Jinja Hippos bannyogoze mu rugby.

Jinja Hippos bannyogoze mu rugby.

Twategedde nti Hippos erudde ng’ezanyira wamu ekyatuwadde amaanyi okukolera awamu nga tuzannyira wamu nga ttiimu ne tuzibira ebibangirizi mwe bandiyise. … Egyagguddewo liigi ya rugby; Jinja Hippos 22-25 Impis Pirates 24-18 Heathens Buffaloes 40-12 Rhinos Mongers 11-09 Rams  Kobs 76-00 Walukuba Barbarians ABAWAGIZI ba Jinja Hippos Rugby Club kata ebifuba bibabugume oluvannyuma lw’okulabat tiimu yaabwe ng’ekubwa

Twategedde nti Hippos erudde ng’ezanyira wamu ekyatuwadde amaanyi okukolera awamu nga tuzannyira wamu nga ttiimu ne tuzibira ebibangirizi mwe bandiyise. …

Egyagguddewo liigi ya rugby;

Jinja Hippos 22-25 Impis

Pirates 24-18 Heathens

Buffaloes 40-12 Rhinos

Mongers 11-09 Rams 

Kobs 76-00 Walukuba Barbarians

ABAWAGIZI ba Jinja Hippos Rugby Club kata ebifuba bibabugume oluvannyuma lw’okulabat tiimu yaabwe ng’ekubwa tiimu ya Makerere Impis (25-22) mu mupiira gwa liigi ya babinyera eya rugby ogwazanyiddwa ku kisaawe kya Dam Waters e Jinja ku Lwomukaaga.

Henry Nsekuye owa Impis ye yabadde omuzannyi w’olunaku bwe yafunidde ttiimu ye obubonero 20 okuva mu kusimula ebisobyo, Allan Kyagulanyi n’agifunira 5, ekyayambye Impis okufuna obuwanguzi ebusookedde ddala mu liigi ku Hippos okuva 2012. Obubonero bwa Hippos bwabafuniddwa Dennis Etwau, Timothy Mugisha ne Yassin Wasswa.

Twategedde nti Hippos erudde ng’ezanyira wamu ekyatuwadde amaanyi okukolera awamu nga tuzannyira wamu nga ttiimu ne tuzibira ebibangirizi mwe bandiyise,” omutendesi wa Impis, Cyrus Ssebuliba bwe yagambye.

Wabula owa Hippos, Said Atibu yategeezezza nti ttiimu ye bwe yalemeddwa okufuna akalungi mu bisobyo bye yafunye ekyagiviiriddeko okukubwa.

Wabula ne baggya ba Hippos aba Walukuba Barbarians abaakakomawo mu liigi, baakiguddeko, Kobs Rugby Club bwe yabawutudde 76-00 mu mupiira ogwabadde ku kisaawe kya Legends mu Kampala.

Bakyampiyoni ba sizoni ewedde aba Heathen baakubiddwa Pirates (24-18) ku kisaawe kya King Power e Bweyogerere.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *