Jinja Hippos yafunye e ssanyu mu liigi ya rugby.

Jinja Hippos yafunye e ssanyu mu liigi ya rugby.

Egya liigi ya rugby egyazannyiddwa; Kobs                       58-13 Mongers Jinja-Hippos           38-17 Buffaloes  Heathens                    55-10 Impis Pirates                          45-05 Rams Walukuba Barbarians 16-15

Egya liigi ya rugby egyazannyiddwa;

Kobs                       58-13 Mongers

Jinja-Hippos           38-17 Buffaloes 

Heathens                    55-10 Impis

Pirates                          45-05 Rams

Walukuba Barbarians 16-15 Rhinos

ABAWAGIZI ba Jinja Hippos beeyiye mu bungi ku kisaawe kya Dam Waters e Jinja okuwagira ttiimu yaabwe eya Jinja Hippos ng’eva emabega okuwuttula Toyota Buffaloes (38-17).

William Wooka ye yasoose okuteebera Buffaloes peneti, wabula aba Jinja Hippos ne badda mu muzannyo bwe baafunye ggoolo okuva mu Munnakenya Andrew Odhiambo ne John Echweru okukulembera omuzannyo (7-3).

Wabula aba Buffaloes baafunye ggoolo okuva ewa David Kateregga ne Douglas Musoke ekitundu ekyokubiri nga kyakatandika wabula kino kyaleetedde Jinja Hippos okukola ennumba ez’omujjirano ne bafuna ggoolo ez’okumu kumu ezaateebeddwa Jackson Opio, Dennis Etwau, John Echweru, Yasin Wasswa, Timothy Mugisha ne Odhiambo ne kiyamba Hippos okuweza obubonero 10 n’erinnya mu kifo kyokutaano okuva mu kyomunaana.

“Tufunye ku buweerero oluvannyuma lw’okufuna obuwanguzi obusooka awaka mu liigi. Kino kijja kutuyamba okweteekateeka nga tukyalidde baggya baffe aba Walukuba Barbarians ku Lwomukaaga luno,” Said Atibu omutendesi wa Jinja Hippos bwe yagambye.

Aba Walukuba Barbarians baafunye obuwanguzi bw’omulundi ogwokubiri obw’omuddiring’anwa bwe bakubye Rhino 16-15 e Walukuba, Jinja.

Wabula embiranye ya Jinja Hippos ne Walukuba Barbarians mu nsiike eneezannyibwa ku Lwomukaaga luno, yaakussa abawagizi ba ttiimu zombi ku bunkenke olwa ttiimu zombi okuwangula emipiira ebiri mu mipiira 5 egyazannyibwa sizoni eno. Ku kisaawe kya Legends aba Makerere Impis baakiguddeko, Heathens we yabawutudde 55-10.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *