Kapiteeni wa Jinja North FC, Samuel Mwanje yayongedde okulaga abawagizi ba kiraabu ye nga bw’alina ennyonta y’okuzannya mu ‘super’ bwe yateebye ggoolo ye eyookuna sizoni eno n’ayamba tiimu ye okufuna obuwanguzi obw’omulundi ogwokuna nga bakuba Northern Gateway (2-1) mu gwa Big League. Omupiira guno ogwabadde ku kisaawe e Bugembe, gwatadde abawagizi ba kiraabu zombi ku
Kapiteeni wa Jinja North FC, Samuel Mwanje yayongedde okulaga abawagizi ba kiraabu ye nga bw’alina ennyonta y’okuzannya mu ‘super’ bwe yateebye ggoolo ye eyookuna sizoni eno n’ayamba tiimu ye okufuna obuwanguzi obw’omulundi ogwokuna nga bakuba Northern Gateway (2-1) mu gwa Big League. Omupiira guno ogwabadde ku kisaawe e Bugembe, gwatadde abawagizi ba kiraabu zombi ku bunkenke.
Frank Zikuraba ye yasoose okuteebera Jinja North United mu ddakiika yoomunaana oluvannyuma lw’okufuna paasi okuva ewa Mwanje.
Kyokka era waayise eddakiika mbale, ne Mwanje n’afunira ttiimu ggoolo eyookubiri nga tebannadda mu kasenge.
Ekitundu ekyokubiri abawagizi ba Jinja North baakimaze nga bali ku bunkenke oluvannyuma lw’omuzibizi wa Northern Gateway, Bernard Okello akuteeba mu ddakiika y’e 65. Abateebi ba Jinja North okwabadde Hamis Tibiita baatandise okusannyisa ekiwuggwe ne basubwa emikisa egiwera ekyayongedde ttiimu yaabwe puleesa.
Mu ddakiika ezaasembyeeyo, abawagizi ba Jinja North, obunkenke bwabeeyongedde olwa Northern Gateway okulinnyisa ggiya ng’enoonya ggoolo y’ekyenkanyi.
“Ttiimu yange nagiwadde ebiragiro okugoba emipiira egya puleesa tusobole okuwanulayo ttiimu ezituli waggulu. Twakyali mupiira mwangu era abazannyi bange nakyo bakimanyi,” Abdulsamadu Musafiiri omutendesi wa Jinja North United bwe yagambye.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *