Kabuleta alabudde Bannayuganda okwegendereza abeefuula abagabirizi b’obuyambi.

Kabuleta alabudde Bannayuganda okwegendereza abeefuula abagabirizi b’obuyambi.

PULEZIDENTI w’ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) , Joseph Kabuleta alabudde Bannayuganda okukomya okukyamuukirira n’Abazungu abeefuula abagabirizi b’obuyambi n’ategeeza nti kino kye kimu ku bizingamizza enkulaakulana ya Africa. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NEED ekisangibwa mu Division y’e Lubaga, Kabuleta agambye nti Bannayuganda basusse obugayaavu nga buli kimu balowooza ku kisaba mu

PULEZIDENTI w’ekibiina kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) , Joseph Kabuleta alabudde Bannayuganda okukomya okukyamuukirira n’Abazungu abeefuula abagabirizi b’obuyambi n’ategeeza nti kino kye kimu ku bizingamizza enkulaakulana ya Africa.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NEED ekisangibwa mu Division y’e Lubaga, Kabuleta agambye nti Bannayuganda basusse obugayaavu nga buli kimu balowooza ku kisaba mu Bazungu  ky’agambye nti kikyamu.

Kabuleta agambye nti abagabirizi b’obuyambi abamu babeera n’ebigendererwa ebikyamu n’ategeeza muli okusaasanya obuseegu mu bavubuka n’ebintu ebirala bingi nga wano w’asabidde Bannayuganda okusooka okwekenneenya abagabirizi b’obuyambi nga tebannaba kukolagana nabo.

Ono era alaze obwennyamivu olw’ebikolwa eby’obuseegu ebyeyongedde mu masomero ensangi zino n’asaba abazadde okukuliza abaana baabwe mu mpisa okubeewaza okukozesebwa mu bikolwa ebikyamu.

Kabuleta ayogedde ne ku bwavu obukudde ejjembe ensangi zino n’asaba gavumenti okusala amagezi .

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *