Kakomo ne Muhindo n’eyaliko ssita wa Cranes ne Villa, Andy Mwesigwa akwasaganya eby’ekikugu mu Villa mu kiiko ez’enjawulo wabula ne balemwa okukaanya. Amir Kakomo ne Benson Muhindo bakwabulira SC Villa oluvannyuma lw’endagaano zaabwe okugwaako ku nkomerero y’omwezi guno. Kigambibwa nti abazannyi bano bagaanyi okuzza endagaano zaabwe obuggya ne kiraabu eno oluvannyuma lw’obutabawa bye basaba. Kakomo
Kakomo ne Muhindo n’eyaliko ssita wa Cranes ne Villa, Andy Mwesigwa akwasaganya eby’ekikugu mu Villa mu kiiko ez’enjawulo wabula ne balemwa okukaanya.
Amir Kakomo ne Benson Muhindo bakwabulira SC Villa oluvannyuma lw’endagaano zaabwe okugwaako ku nkomerero y’omwezi guno.
Kigambibwa nti abazannyi bano bagaanyi okuzza endagaano zaabwe obuggya ne kiraabu eno oluvannyuma lw’obutabawa bye basaba.
Kakomo eyabadde omusaale ennyo sizoni ewedde nga ttiimu eno esigala mu liigi, yeegatta ku Villa mu 2018. Yaliko mu Kiboga Young, Juventus Namasuba, Ssingo, Buwekula ne Gomba mu z’Amasaza.
Ate ye Muhindo yasuumusibwa okuva mu akademi ya Villa. Sizoni ewedde, Villa yamalidde mu kya 12 n’obubonero 33.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *