Kampala Queens ekakasiza Grace Aluka.

Kampala Queens ekakasiza Grace Aluka.

Mu kaweefube w’okulaba nga abavuganya ku kikopo kya sizoni ejja mu liigi y’abakazi eya FUFA Women’s Super League,Kampala Queens ekakasiza Grace Aluka agigumizze. Aluka abadde omuteebi wa Olila High School ,nga Queens emuwadde endagaano ya myaka 2.Mu Olila, yateebye ggoola 10 sizoni ewedde. Wadde sizoni ewedde Aluka yazannya ng’omuteebi, asobora n’okuzannya ng’omuzibizi mu kisenge wakati

Mu kaweefube w’okulaba nga abavuganya ku kikopo kya sizoni ejja mu liigi y’abakazi eya FUFA Women’s Super League,Kampala Queens ekakasiza Grace Aluka agigumizze.

Aluka abadde omuteebi wa Olila High School ,nga Queens emuwadde endagaano ya myaka 2.Mu Olila, yateebye ggoola 10 sizoni ewedde. Wadde sizoni ewedde Aluka yazannya ng’omuteebi, asobora n’okuzannya ng’omuzibizi mu kisenge wakati ne nnamba 3.

Kampala Queens eyamalira mu kyokubiri sizoni ewedde n’obubonero 39 eyagala kusitukira mu kikopo kya sizoni eno nga yenwezezza n’abazannyi 5 be yaakagula mu katale. Aluka baamugasse ku Daisy Nakaziro, Sumaya Komuntale, Teddy Najjuma ne Aisa Nakibuuka.

Kampala Queens eggulawo ne Asubo Gafford Ladies FC eyavudde mu kibinja ekyokubiri nga September 18.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *