Kane ayongedde okufuuka omuteego eri buli ttiimu.

Kane ayongedde okufuuka omuteego eri buli ttiimu.

Omuteebi wa Bayern, Harry Kane ayongedde okufuuka omuteego eri buli ttiimu gy’asisinkana emukaaba. Kane yateebye ggoolo ssatu nga ttiimu ye ewuttula Bochum {7-0}. Kane, eyeegatta ku Bayern ku ntadikwa ya sizoni eno, yaakateeba ggoolo musanvu mu mipiira etaano sizoni eno. Omutendesi wa Bayern, Thomas Tuchel, yagambye nti Kane, alina kinene Ky’agasse ku ttiimu yaabwe naddala

Omuteebi wa Bayern, Harry Kane ayongedde okufuuka omuteego eri buli ttiimu gy’asisinkana emukaaba.

Kane yateebye ggoolo ssatu nga ttiimu ye ewuttula Bochum {7-0}. Kane, eyeegatta ku Bayern ku ntadikwa ya sizoni eno, yaakateeba ggoolo musanvu mu mipiira etaano sizoni eno.

Omutendesi wa Bayern, Thomas Tuchel, yagambye nti Kane, alina kinene Ky’agasse ku ttiimu yaabwe naddala mu kulaga ennyonta y’okuwangula buli mupiira.

Kane atuwadde amaanyi agalwanira buli mupiira.

Tulina okukkiriza nti ajja kuba wa mugaso sizoni yonna,’’ Tuchel bw’agamba.

Mu mipiira ebiri egisembyeyo, yeenyigidde mu ggoolo musanvu {ggoolo 4 ne asisiti 3.}

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *