Kaputeeni wa She – Cranes agudde mu bintu.

Kaputeeni wa She – Cranes agudde mu bintu.

Kaputeeni wa ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes Peace Proscovia agudde mu bintu bw’alondeddwa ku bumyuka bwa kaputeeni owookusatu mu kkiraabu ya Surrey Storm ezannyira mu liigi y’okubaka eya Bungereza eya babinywera eya Vitality Netball Super League. Ttiimu yaakuduumirwa Yasmin Brookes ng’ayambibwako Niamh Cooper ne Proscovia Peace ng’omumyuka owo Peace eyeegatta ku kkiraabu ya

Kaputeeni wa ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes Peace Proscovia agudde mu bintu bw’alondeddwa ku bumyuka bwa kaputeeni owookusatu mu kkiraabu ya Surrey Storm ezannyira mu liigi y’okubaka eya Bungereza eya babinywera eya Vitality Netball Super League.

Ttiimu yaakuduumirwa Yasmin Brookes ng’ayambibwako Niamh Cooper ne Proscovia Peace ng’omumyuka owo Peace eyeegatta ku kkiraabu ya Surrey storm mu mwaka gwa 2021 asinzidde ku mukutu gwe ogwa Facebook, ne yeebaza nnyo kkiraabu ya Surrey Storm olw’okumuteekamu obwesige n’emulonda ku bukulembeze bwa kkiraabu eno sizoni 2023.

Bino we bijjidde nga Kiraabu za Bungereza zeetegekera liigi y’okubaka eya babinywera etandika nga Febuary 11. 

Kiraabu ya Surrey Storm nga yamalira mu kifo kya musanvu sizoni ewedde eggulawo ne kkiraabu ya Sirens omuzanyira munnayuganda Stella Oyella eyamalira mu kifo eky’omunaana.    okusatu

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *