Karius yagumizza  ttiimu ye.

Karius yagumizza  ttiimu ye.

Eyali goolokipa wa Liverpool nga kati ali mu Newcastle, Loris Karius agumizza aba ttiimu ye nti ebyamutuukako mu finolo ya Champions League mu 2018 nga Real ekuba Liverpool {3-1}si byakuddamu ku Ssanda nga battunka ne ManU ku fayinolo ya Carabo Cup. Karius, amaze emyaka 2 nga akwata mupiira wabula oluvannyuma lwa Nick pope okubeera ku

Eyali goolokipa wa Liverpool nga kati ali mu Newcastle, Loris Karius agumizza aba ttiimu ye nti ebyamutuukako mu finolo ya Champions League mu 2018 nga Real ekuba Liverpool {3-1}si byakuddamu ku Ssanda nga battunka ne ManU ku fayinolo ya Carabo Cup.

Karius, amaze emyaka 2 nga akwata mupiira wabula oluvannyuma lwa Nick pope okubeera ku kkoliga lya kaadi emmyuufu gya yafuunye ku Lwomukaaga nga bazannya Liverpool ate  nga  Marti Dubravka takkirizibwa ku zannya { Yazannyirako ManU mu mpaka zino sizoni eno} ne Karl Darlow ali ku looni,Karius y’aliwo yekka okutaasa Newcastle.

‘’Ndi mwetegefu okulwanira ttiimu yange efunne ekikopo kino.

Mbadde ntendekebwa era ebyaliwo mu 2018 tebigenda kunkosa,’’ Karius bwe yagambye.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *