Kasozi ye’yazze mu bigere bya Ayiekho ‘Mbuzi’.

Kasozi ye’yazze mu bigere bya Ayiekho ‘Mbuzi’.

Makerere University Business School (MUBS) epasudde omutendesi William Kasozi abadde ku ttabi ekkulu ery’e Makerere n’adda mu bigere bya Charles Ayiekho ‘Mbuzi’ eyasuulawo omulimu guno ne yeegatta ku Simba eya Tanzania. Ayiekho yayabulira MUBS bwe yali yaakawangula Kyambogo (2-1) mu nsiike esooka eya ‘quarter’ za liigi ya yunivaasite (Pepsi University Football League) mu October wa

Makerere University Business School (MUBS) epasudde omutendesi William Kasozi abadde ku ttabi ekkulu ery’e Makerere n’adda mu bigere bya Charles Ayiekho ‘Mbuzi’ eyasuulawo omulimu guno ne yeegatta ku Simba eya Tanzania.

Ayiekho yayabulira MUBS bwe yali yaakawangula Kyambogo (2-1) mu nsiike esooka eya ‘quarter’ za liigi ya yunivaasite (Pepsi University Football League) mu October wa sizoni ewedde, teyalinda gwa kudding’ana.

Kasozi ku ndagaano ya myaka ebiri ayagala kufunayo waakiri ekikopo kimu mu mupiira gwa yunivaasite ng’omutendesi, kiddiridde emyaka egisinga gy’abadde e Makerere, ttiimu ebadde etera kuwandukira ku ‘quarter’ ne semi, nga kati eyagala kuwandiika byafaayo bipya ne MUBS.

MUBS yaakawangula ekikopo kya yunivaasite emirundi ebiri (2014 ne 2015), sizoni ewedde baawandukidde ku semi bwe baggyiddwaamu St. Lawrence University (SLAU) ku mugatte gwa ggoolo (5-1) oluvannyuma lwa wiini ya (2-1) awaka ne (3-0) ku bugenyi.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *