OMUKUBI w’ensambaggere Kawaga Bamweyana eyakazibwako erya ‘Coach Kawaga omunuzi wa Bunwe’ yeeweze okuggunda Omusudan Richard Oulanyah mu lulwana lwabwe olw’okudding’ana. Kawaga ne Oulanyah baakwerigira ku Gladiator Paradise Gardens e Masanafu mu divizoni ya Lubaga nga April 7 omwaka guno. Luno lulwana lwabwe lwa kudding’ana ng’olwasooka olwaliwo nga January 14 omwaka guno ku MTN Arena e
OMUKUBI w’ensambaggere Kawaga Bamweyana eyakazibwako erya ‘Coach Kawaga omunuzi wa Bunwe’ yeeweze okuggunda Omusudan Richard Oulanyah mu lulwana lwabwe olw’okudding’ana.
Kawaga ne Oulanyah baakwerigira ku Gladiator Paradise Gardens e Masanafu mu divizoni ya Lubaga nga April 7 omwaka guno.

Luno lulwana lwabwe lwa kudding’ana ng’olwasooka olwaliwo nga January 14 omwaka guno ku MTN Arena e Lugogo lwaggweera mu maliri.
Kawaga mu kiseera kino ali mu kutendekebwa okwa kaasammeeme ku ‘Reshape Pain Gym’ e Lubya era asuubizza abawagizi be bw’agenda okutimpula Omusudan amwogeze n’Oluganda.
Baakuttunkira mu buzito bwa ‘Light weight’ kiro 60 mu nwana ya K1 Style ey’okukozesa amaviivi, tteke n’ebikonde lawundi 5.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *