Abawagizi ba Express FC ,baavudde e Wankulukuku nga batenda Allan Kayiwa oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo nga bamegga BUL FC (1-0) Ku lwokubiri mu liigi ya babinywera eya Star Times Uganda Premier League,Express yawangudde BUL 1-0 mupiira ogwabaddeko obugombe. BUL yayingidde ensiike eno ng’eyagala buwanguzi bwokka okwenywereza ku ntikko ya liigi sso nga Express yabadde eyagala
Abawagizi ba Express FC ,baavudde e Wankulukuku nga batenda Allan Kayiwa oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo nga bamegga BUL FC (1-0)
Ku lwokubiri mu liigi ya babinywera eya Star Times Uganda Premier League,Express yawangudde BUL 1-0 mupiira ogwabaddeko obugombe.
BUL yayingidde ensiike eno ng’eyagala buwanguzi bwokka okwenywereza ku ntikko ya liigi sso nga Express yabadde eyagala kumatiza bawagizi baayo nti BUL tesobola kujja buwanguzi Wankulukuku.
Allan Kayiwa eyateebye mu ddakiika y’e 12 ggoolo ye yawadde Express obuwanguzi n’edda mu kifo ekyokusatu ku bubonero 11.Kayiwa yategeezezza nga bw’agenda okulwana okulaba nga ttiimu eno ewagula emipiira gyayo esitukire mu kya liigi sizoni eno.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *