KCCA yawangudde Weyonje (41-37) mu liigi y’okubaka.

KCCA yawangudde Weyonje (41-37) mu liigi y’okubaka.

Mu liigi y’okubaka Makindye Weyonje 37-41 KCCA Prisons 58-43 UCU NIC  53-43 UPDF Mutelex Life Sport 30-50 Prisons Obuvune bwa kapiteeni wa Makindye Weyonje Shakira Nassaka n’omuteebi Asiina Kabendela buwadde KCCA omwagaanya okubaggyako wiini wakati mu nsiike eyabadde ey’obunkenke. KCCA yalwanye  okufuna wiini (41-37) ku Weyonje mu liigi y’okubaka ey’oku ntikko eyayindidde ku kisaawe kya

Mu liigi y’okubaka

Makindye Weyonje 37-41 KCCA

Prisons 58-43 UCU

NIC  53-43 UPDF

Mutelex Life Sport 30-50 Prisons

Obuvune bwa kapiteeni wa Makindye Weyonje Shakira Nassaka n’omuteebi Asiina Kabendela buwadde KCCA omwagaanya okubaggyako wiini wakati mu nsiike eyabadde ey’obunkenke.

KCCA yalwanye  okufuna wiini (41-37) ku Weyonje mu liigi y’okubaka ey’oku ntikko eyayindidde ku kisaawe kya Kamwokya Sports Center.

Bakira ttiimu zombi ziri ku mbiranyi nga buli emu tekkiriza ginnaayo kugikulembera era ekitundu ekisooka kyaweddeko nga benkanya evvumbe ku bugoba.(22-22)

Wabula nga ‘quarter’ eyookusatu eneetera okukomekkerebwa,empagi za Weyonje kwe yabadde eyimiridde okuli;Kabendela ne Nassakaa baafunye obuvune ne baggyibwa ku kisaawe ekyawadde KCCA embavu okuwangula omuzannyo n’enjawulo ya bugoba buna bwokka.

Jesse Asiimwe atendeka Weyonje yategeezezza ng’ekisinze okumukubya be bazannyi abatono b’alina oluvannyuma lw’okuviibwako bataano kw’abo be yalina sizoni ewedde ate n’atafuna bapya.

‘’Ekireetedde abazannyi bange okulwala kwe kubakaka okuzannya olw’ensoga mbadde sirina benteeka mu bifo byabwe era kati tugenda kugulayo okuggumizza ttiimu,’’Asiimwe bwe yategeezezza.

Fred Mugerwa atendeka KCCA yacwanye olwa ttiimu erina abazannyi ba She Cranes bana ate nga bonna baabadde ku kisaawe okuvumbeera era n’awera okubakwasa omukono ogw’ekyuma.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *