Jacob Kiplimo awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu ogwokubiri mu mizannyo gya Common Wealth egiyindira mu kibuga Birmingham ekya Bungereza. Omudaali guno aguwangudde mu kiro ekikesezza leero mu misinde gya mmita 10,000 era emisinde gino agiddukidde eddakiika 27:09:19. Kiplimo waakudda mu nsiike mu misinde gya mmita 5,00 era namwo asuubizza okuwangulira Uganda omudali gwa zaabu. Oluvannyuma
Jacob Kiplimo awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu ogwokubiri mu mizannyo gya Common Wealth egiyindira mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.
Omudaali guno aguwangudde mu kiro ekikesezza leero mu misinde gya mmita 10,000 era emisinde gino agiddukidde eddakiika 27:09:19.
Kiplimo waakudda mu nsiike mu misinde gya mmita 5,00 era namwo asuubizza okuwangulira Uganda omudali gwa zaabu.
Oluvannyuma Lw’okuwangula,Kiplimo ategeezezza nti akyalina ebiruubirirwa bingi naddala omwaka guno n’asuubiza bannayuganda balinde emidaali emirala.
Omudaali gwa zaabu guno, yagugasse kiu gw’ekikomo gwe yawangulidde Uganda mu misinde gy’ensi yonna mu Amerika omwezi oguwedde mu mmita 10,000 kwossa ogw’ekikomo gwe yawangudde mu misinde gye gimu mu mizannyo gya Olympics e Japan omwaka oguwedde.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *