Emmunyeenye y’Omuzannyo gw’omupiira ogw’ebigere ow’ebyafaayo Nankinku Pele avudde mu bulamu bw’ensi eno ku myaka 82. Pele amaze ebbanga ng’atawanyizibwa ekirwadde kya Kkookolo. Edison Arrantes do Nascimento Pele yazaalibwa mu 1940 mu Brazil Yatandika okuzannya omupiira ogw’ensimbi nga wa myaka 15, ng’azannyira tiimu ya Santos mu 1956. Ye musambi w’omupiira munsi yonna eyakawangula ekikopo kya Fifa
Emmunyeenye y’Omuzannyo gw’omupiira ogw’ebigere ow’ebyafaayo Nankinku Pele avudde mu bulamu bw’ensi eno ku myaka 82.
Pele amaze ebbanga ng’atawanyizibwa ekirwadde kya Kkookolo.
Edison Arrantes do Nascimento Pele yazaalibwa mu 1940 mu Brazil

Yatandika okuzannya omupiira ogw’ensimbi nga wa myaka 15, ng’azannyira tiimu ya Santos mu 1956.
Ye musambi w’omupiira munsi yonna eyakawangula ekikopo kya Fifa World cup emirundi esatu.
Ebbanga lyeyamala ng’asamba omupiira yateeba ggoolo 1,281 mu mipiira 1,363. Ku goolo zino Brazil yagiteeberako 77 mu mipiira 92
Akakiiko akateekateeka emizannyo gyonna egy’ensi yonna aka International Olympic Committee, mu 1999 kaamulonda ng’omuzannyi ow’ekyasa.
Abazannyi ab’omulembe guno abagerageranyizibwa ku Pele ye Maradona , Messi ne Ronaldo.
February 5th 1976 Pele yakyalako mu Uganda, n’ekigendererwa eky’okwongera okutumbula n’okwagazisa abavubuka omupiira

Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *