Kiwalabye ne Nanziri bawera kuwangula  misipi gya Afrika.

Kiwalabye ne Nanziri bawera kuwangula  misipi gya Afrika.

Abakubi b’ebikonde Frank Kiwalabye,Catherine Nanziri ne Stanely Mugerwa bawaga kusitukira mu misipi gya Afrika.Bonsatule bakubeera mu miguwa omwezi guno November nga 26. Ennwaana zino zaakubeera ku club Obligatto nga zitegekeddwa aba A&B Boxing Promotions. Kiwalabye,eyawangulako omusipi gwa (ABU)African Boxing Union Super Flyweight Title mu 2015 kw’ossa ogwa Universal Boxing Organisation (UBO) Africa Bantamweight Title, omwaka

Abakubi b’ebikonde Frank Kiwalabye,Catherine Nanziri ne Stanely Mugerwa bawaga kusitukira mu misipi gya Afrika.Bonsatule bakubeera mu miguwa omwezi guno November nga 26.

Ennwaana zino zaakubeera ku club Obligatto nga zitegekeddwa aba A&B Boxing Promotions.

Kiwalabye,eyawangulako omusipi gwa (ABU)African Boxing Union Super Flyweight Title mu 2015 kw’ossa ogwa Universal Boxing Organisation (UBO) Africa Bantamweight Title, omwaka oguwedde awera ne ku luno kusitukira mu gwa ABU East and Central Africa Bantamweight Title.

Waakuttunka n’Omutanzania Idris Feruzi gwe yeeweredde okukuba amunnyule mu bikonde .Nanziri akomawo mu miguwa mw’aganda okuttunkira ne Munnakenya Nicole Acieng ku musipi gwa East and Central Africa,bantamweight title era awera kumukeesa ng’uumi.

Mugerwa bwakumwefuka ne Juma Waiswa ku musipi gw’eggwanga ogwa National Middleweight Title.

Ku lulwana lwe lumu,Lsaac Masembe waakuttunka ne Ben Ssajjabbi, Kenny Lukyamuzi ‘De Mexico’ yeerige ne Munnakenya Partrick Amote n’abalala.  Awamu ennwaana 13 ze zigenda okuzannyibwa.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *