Kobs yatimpudde Rhino.

Kobs yatimpudde Rhino.

Ebivudde mu Liigi ya Rugby ku WiikendiRhinos 08-31 Kobs Impis 10-32 Pirates Rams 11-28 Hippos Mongers 14-17 Buffaloes Walukuba 03-40 Heathens Luno lubadde luzannya olwokusatu olw’okudding’ana mu liigi ya Nile Special Rugby League. Kobs esigadde ku ntikko ya liigi eno bw’ewangudde Rhino ku bugoba 31-08 mu mupiira ogusoose okukona nga beeraga eryanyi ku kisaawe bonna

Ebivudde mu Liigi ya Rugby ku WiikendiRhinos 08-31 Kobs

Impis 10-32 Pirates

Rams 11-28 Hippos

Mongers 14-17 Buffaloes

Walukuba 03-40 Heathens

Luno lubadde luzannya olwokusatu olw’okudding’ana mu liigi ya Nile Special Rugby League.

Kobs esigadde ku ntikko ya liigi eno bw’ewangudde Rhino ku bugoba 31-08 mu mupiira ogusoose okukona nga beeraga eryanyi ku kisaawe bonna kye bakozesa ng’ekyokubutaka.

Bazannyidde eddakiika 30 nga tewali ateebyeyo kagoba okutuusa Collins Kimbowa lw’ateebedde Kobs obubonero butaano obugguddewo.

Bakyuse Kobs ekulembedde ku bogoba butaano.

Al Haji Manano owa kiraabu ya Kobs eyalondeddwa ku buzannyi bw’olunaku mu mupiira guno ategeezezza nti ekitundu ekisooka kyabadde kikalubo okutuusa lwe baakozesezza obumanyirivu okutandika okujja obugoba ku Rhino.

Kobs esigadde ku ntikko ya liigi ku bubonero 54 nga Heathens esigadde mu kyakubiri wadde nayo ewangulidde ku bugenyi bw’ekubye Walukuba ku bogoba 40-03.

Mongers esinziira e Ntebe nayo abagenyi aba Buffaloes bagimegedde ku butaka ku bogoba 17-14 wadde ng’esoose kufunvubira ekitundu ekisooka bwe kiweddeko ng’ekulembedde ku bugoba 9-8.

Hippos nayo olugando lw’e Jinja eruganyuddemu bw’ekubye Rams omwayo ku kisaawe kya yunivasite e Makerere ku bugoba 28-11.

Liigi eddamu ku Lwomukaaga.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *