K.U – Uganda Martyrs, Kibuli Kampala University eyagala kwetakkuluza ku Uganda Martyrs University bwe benkanya obubonero mu mipiira ebiri gye baakazannya bombi sizoni eno 2022 mu Pepsi University League. K.U eri waka e Kibuli gye yaakamala okumeggera Ndejje University 2-1 wiiki bbiri emabega nga kati enoonya wiini ya sizoni wiini eyookubiri oluvannyuma lw’okukubwa Gulu (3-0)
K.U – Uganda Martyrs, Kibuli
Kampala University eyagala kwetakkuluza ku Uganda Martyrs University bwe benkanya obubonero mu mipiira ebiri gye baakazannya bombi sizoni eno 2022 mu Pepsi University League.
K.U eri waka e Kibuli gye yaakamala okumeggera Ndejje University 2-1 wiiki bbiri emabega nga kati enoonya wiini ya sizoni wiini eyookubiri oluvannyuma lw’okukubwa Gulu (3-0) ku bugenyi mu nsiike eyaggulawo egy’ekibinja.
UMU nayo yakubwa Ndejje University mu gwasooka (1-0) mu nsiike eyaggulawo sizoni wabula beenunula wiiki bbiri emabega bwe baakuba Gulu (2-0) ng’awangudde leero Lwakubiri ye yezzizza entikko y’ekibinja E.
Ababiri bano benkanya evvumbe mu sizoni yaabwe eyasooka okusisinkana mu 2013, KU 2-1 ne UMU 1-0, 2014 besanga omulundi gumu KU n’ewangula(1-0) ate 2015 ne 2020, ensiike zombi zaggweera mu maliri (1-1).
Ekibinja E kikulembeddwa Gulu n’enjawulo ya ggoolo emu ku bubonero busatu bwe yenkanya ne UMU mu kyokubiri, Ndejje mu kyokusatu terinaawo nfissi ya ggoolo ate KU ebangibwa ggoolo bbiri wansi w’ekibinja naye zonna zirina obubonero busatu buli emu.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *