Kyambogo warriors eri ttale nga liigi ya Basketball ekomawo

Kyambogo warriors eri ttale nga liigi ya Basketball ekomawo

TTIIMU ya Kyambogo Wariors bakyampiyoni emirundi ebiri bagobeddwa mu liigi ya Basketball eya ‘Super’ ku ssaawa esembayo lwa kulemererwa kutuukiriza bisaanyizo bya kufuna layisensi. Ku Lwakutaano (March 11, 2022) liigi ya Basketball eya babinywera ekomawo n’ensiike bbiri mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga yasazibwamu olw’embeera ya Corona ebadde yafung’amya ensi

TTIIMU ya Kyambogo Wariors bakyampiyoni emirundi ebiri bagobeddwa mu liigi ya Basketball eya ‘Super’ ku ssaawa esembayo lwa kulemererwa kutuukiriza bisaanyizo bya kufuna layisensi.

Ku Lwakutaano (March 11, 2022) liigi ya Basketball eya babinywera ekomawo n’ensiike bbiri mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga yasazibwamu olw’embeera ya Corona ebadde yafung’amya ensi yonna okuli n’eby’emizannyo.

Mu liigi ya Basketball

Lwakutaano

KCCA Leopards – KIU Rangers

City Oilers – NAM Blazers

TTIIMU ya Kyambogo Wariors bakyampiyoni emirundi ebiri bagobeddwa mu liigi ya Basketball eya ‘Super’ ku ssaawa esembayo lwa kulemererwa kutuukiriza bisaanyizo bya kufuna layisensi.

Ku Lwakutaano (March 11, 2022) liigi ya Basketball eya babinywera ekomawo n’ensiike bbiri mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga yasazibwamu olw’embeera ya Corona ebadde yafung’amya ensi yonna okuli n’eby’emizannyo.

City Oilers bakyampion ba liigi emirundi musanvu egy’omuddiring’anwa baggulawo ne Namuwongo Blazers (NAM Blazers) abaakajja mu liigi ate KCCA Leopards battunka ne KIU Rangers mu bakazi.

Hudson Ssegamwenge omumyuka wa Pulezidenti era ssaabawandiisi wa FUBA ekibiina ekitwala omuzannyo gwa Basketball mu ggwanga yategeezezza nti ekyagobezza Worriors mu sizoni eno lwakugaana kuwaayo ssente z’okwewandiisa mu budde ate ne batafaayo kuteeka nsonga zaabwe mu buwandiike.

“Sizoni eno ebadde yaakwetabwamu ttiimu 14 wabula Kyambogo Worriors yanyoomoodde ebiragiro by’okwewandiisa era twagiggye ku lukalala ne tusigaza 13, bw’eneeba yeetereezezza sizoni ejja yaakutandikira mu kibinja ekya wansi,” Ssegamwenge bwe yakakasizza.

Brian Gumiisiriza maneja wa Kyambogo Warriors agamba nti kibayisizza bubi obutakiika mu sizoni ya mulundi guno wabula nsonga lwaki baalemereddwa okutuukiriza ebisaanyizo mu budde, FUBA yabaweereza empapula ezikakasa okuddamu kwa liigi kikeerezi, wabula babadde bagezezaako naye bwe baba baziddwa mu kibinja ekya wansi tewali buzibu bagenda kuddayo,” Gumiisiriza bwe yategeezezza.

“FUBA yatutegeeza kikeerezi, naye katuddeyo wansi tuzimbe ttiimu empya era twatandise dda, sizoni ejja tukomewo nga tuli banjawulo n’okusinga bwe tubadde,” Gumiisiriza bwe yategeezezza.

Falcon ku bikopo 6 ne City Oilers (7) be baakasinga okuwangula ekikopo kya Basketball emirundi emingi.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *