Bya Drake Ssentongo MUKONO Black Power FC 39 Maroons FC 38 Kyetume FC 37 Kataka FC 36 Kyaddaki ttiimu ya Kyetume FC ey’omugagga Rueben Kaggwa ekomyeewo mu liigi y aba babinywera ‘Super’. Kyetume yaliko mu Super sizoni biri okuva mu 2018/19 ng’etendekebwa George ‘Best’ Nsimbe. Abalala abaddako okugitendeka ye Livingstone Mbabazi, Alex Isabirye ne Jackson
Bya Drake Ssentongo
MUKONO
Black Power FC 39
Maroons FC 38
Kyetume FC 37
Kataka FC 36
Kyaddaki ttiimu ya Kyetume FC ey’omugagga Rueben Kaggwa ekomyeewo mu liigi y aba babinywera ‘Super’.

Kyetume yaliko mu Super sizoni biri okuva mu 2018/19 ng’etendekebwa George ‘Best’ Nsimbe. Abalala abaddako okugitendeka ye Livingstone Mbabazi, Alex Isabirye ne Jackson Mayanja ‘Mia Mia’ awo we yaddira mu bannamba lugyega.
Kyetume okudda yawangudde Kataka ku ggoolo 3-2 e Mbale mu gumu ku mipiira egyaggaddewo Big league. Kataka yabadde eyaggala ddulo yokka olwo Kyetume etendekebwa David Mutono esigale mu Big league.
Kyetume ebadde yafuuka nsindika njake nga buli mupiira abawagizi beebasonda ssente za babazannyi mu nkola ya ‘muda muda’. Wabula agomunkuubo galaga nga omuyimbi Eddy Kenzo bwe yaguze emigabo mu kiraabu eno okubataasa.
Abalala abayingidde Super ye Black Power FC eyawangudde ekikopo kino, ne Maroons FC. Ate abaziddwa mu ‘Regional league’ ye MYDA FC, Nyamityobola FC ne Proline FC.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *