Leero olutalo lwa Big League luddamu okuyinda.

Leero olutalo lwa Big League luddamu okuyinda.

Kyetume – Jinja North Utd, Nakisunga Lugazi – Booma, Lugazi NEC – Northern Gateway SC, Bugoloobi Kataka – Kaaro Karungi, Mbale Municipal Calvery – Adjumani T/C, Arua Police – Soroti, Kavumba Ndejje – Luweero Utd, Bombo Barracks Mbarara City – Kitara FC, Kakyeka Olutalo lw’entikko ya Big League lulinnye enkandaggo nga Mbarara City ekyaza Kitara

Kyetume – Jinja North Utd, Nakisunga

Lugazi – Booma, Lugazi

NEC – Northern Gateway SC, Bugoloobi

Kataka – Kaaro Karungi, Mbale Municipal

Calvery – Adjumani T/C, Arua

Police – Soroti, Kavumba

Ndejje – Luweero Utd, Bombo Barracks

Mbarara City – Kitara FC, Kakyeka

Olutalo lw’entikko ya Big League lulinnye enkandaggo nga Mbarara City ekyaza Kitara bwe bali ku mbiranye y’ani aliira Ssekukkulu ku ntikko ya liigi.

Ttiimu ebbiri tezirima kambugu kuba zombi zaaliko mu ‘super’ ne zisalwako gye buvuddeko. Buli lwe zisisinkana, buli emu erwana kukkatira ginnaayo. Leero ku Lwakuna bali mu kisaawe e Kakyeka ng’awangula y’alinnya ku ntikko.

Bombi baakazannya emipiira 9, Kitara ku bubonero 20 ekulembedde Mbarara City erina 19 mu kyokubiri. Kitara olukoba erusibidde ku Patrick Kaddu eyaakabateebera ggoolo 10, ate Mbarara etunuulidde Henry Kitegenyi alina 9.

Wabula Mbarara City erina okwerinda National Enterprise Corporation (NEC) eri mu kyokusatu ku bubonero 17, leero ekyazizza Northern Gateway SC ku kisaawe e Bugoloobi. Ssinga ewangula ate Mbarara n’ekubwa, NEC ejja kw’ezza ekifo ekyokubiri.

Ttiimu 16 eziri mu liigi eno zikolerera kumalira mu bifo bisatu ebisooka okwesogga ‘super’.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *