Oluvanyuma lwa wiiki emu nga lawundi eyokubiri eya liigi yokubbaka eya Uganda Netball Super League kyejje eddemu, akakiiko akadukanya liigi y’eggwanga aka Planning and Organizing committee kavuddeyo nekalangirira nga liigi ate bweyimiriziddwa ebbanga eritali ggere. Ekiwandiiko kye batadde ku yintaneti, akakiiko kabadde tewa nsonga nambulukufu ku ki ekiyimiriza liigi wabula nga bategezeza nti waliwo ensonga
Oluvanyuma lwa wiiki emu nga lawundi eyokubiri eya liigi yokubbaka eya Uganda Netball Super League kyejje eddemu, akakiiko akadukanya liigi y’eggwanga aka Planning and Organizing committee kavuddeyo nekalangirira nga liigi ate bweyimiriziddwa ebbanga eritali ggere.
Ekiwandiiko kye batadde ku yintaneti, akakiiko kabadde tewa nsonga nambulukufu ku ki ekiyimiriza liigi wabula nga bategezeza nti waliwo ensonga ezibadde zitebereka nga kwebasinzidde okuyimiriza liigi.

Micheal Kakande nga yaakulirira akakiiko akategeka liigi ategeezezza nga bwe bayimirizza liigi okusobola okuddamu okwetegereza ensonga ezibadde zeemulugunyizibwako bamaneja ba kiraabu .
Ono ayongeddeko nti baakutuula mu lukiiko ku Mmande ya wiiki ejja okusobola okugonjoola obutakkaanya buno wamu n’okukanya ku nsonga ezimu ezeekuusa ku kuddukanya liigi.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *