Oluvannyuma lw’abanene okuli Chelsea ne Liverpool okusuula, Premier League efuuse ya muliro ogwokya buli kiramu era tegutaliza. Jurgen Klopp atendeka Liverpool yasigadde ayomba n’akuba emmeeza nagamba nti singa Liverpool eyongera okusuula obubonero yandisubwa ebifo bya Top4. Liverpool by’erina okutereeza okuzza sizoni engulu; 1.OKUKYUSA MU BBAAKA; Klopp alina okukyusa mu bbaaka ya Liverpool,basobole okukendeeza ku nsobi.Jamie
Oluvannyuma lw’abanene okuli Chelsea ne Liverpool okusuula, Premier League efuuse ya muliro ogwokya buli kiramu era tegutaliza.
Jurgen Klopp atendeka Liverpool yasigadde ayomba n’akuba emmeeza nagamba nti singa Liverpool eyongera okusuula obubonero yandisubwa ebifo bya Top4.
Liverpool by’erina okutereeza okuzza sizoni engulu;
1.OKUKYUSA MU BBAAKA; Klopp alina okukyusa mu bbaaka ya Liverpool,basobole okukendeeza ku nsobi.Jamie Carragher,yagambye nti Van Dijk bw’ayongera okusuula omutindo gwe balina okumukuba akatebe waakiri basambiseewo Fabinho oba Matip akyali omulwadde.
2.BASSITA ABASINGA BAKOOWU; Ye Neville ng’ali ku mukutu gwa Sky Sports yagambye nti bassita ba Liverpool basambye emipiira mingi sizoni ssatu eziyise mu bikopo ebyenjawulo ekitegeeza tebakyasobola kumalako ddakiika 90 nga basambira ku ppeesi ya ttiimu za Premier League.
3.MMIDI YAAKUSALIRA MAGEZI; Ye Thierry Henry yagambye nti mmidi eyimiridde nnyo ku Alcantara naye onoonya omusambi omulala asambira ku mutindo gwe n’abula sizoni eno ekintu Liverpool ky’erina okusalira amagezi kubanga sizoni egenda.
4.EKYOTO OKUTEEBA GGOOLO Z’ENSONGA; Ekyoto kya Nunez ne Salah ssaako Firmino kiteeba ggoolo ntono ez’ensonga naddala nga ttiimu eri ku puleesa ekintu kye balina okukyusaamu.
LIKODI ZA LIVERPOOL;
- Likodi ya Virgil van Dijk ey’emipiira 70 nga takubwamu ku Anfield mu Premier League yaweddewo bwe bakubiddwa Leeds.
- Aleksandar Mitrovic ye musambi asoose okukuba ennyanda 10 ku ggoolo n’atateebayo ggoolo mu mupiira gwe gumu ogwa Premier League.Kane yakikolako mu December 2017 ku Brighton.
- Everton ye ttiimu eyasoose okufuna ‘clean sheet’ ku Craven Cottage amaka ga Fulham sizoni eno.
- Trevoh Chalobah,baamukubye omupiira we ogwasose ogwa Premier League ng’ayambadde omujoozi gwa Chelsea. Abadde yaakasamba emipiira 26 n’afunamu wiini 9.
- Newcastle ye ttiimu esinga okuba ne ‘clean sheets’ mu Premier League sizoni eno.Erina ‘clean sheet’ 6 mu mipiira 10 bateebyemu ggoolo 24.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *