Liverpool ekubiddwa omupiira ogwokusatu ku bugenyi.

Liverpool ekubiddwa omupiira ogwokusatu ku bugenyi.

Liverpool ekubiddwa omupiira ogwokusatu ku bugenyi.Liverpool ekubiddwa omupiira ogwokusatu ku bugenyi ogw’omuddiring’anwa mu Premier League nga gwe mulundi ogusoose mu myaka kkumi, Wolves ebadde mu kiraabu ezisembye ku kimeeza bw’egisabudde ggoolo 3 – 0. Joel Matip (omuzibizi wa Liverpool) y’agguddewo ggoolo za Wolves bwe yeeteebye mu katimba ke kyokka n’embooge ebadde tennabuguma, omuzibizi wa Wolves

Liverpool ekubiddwa omupiira ogwokusatu ku bugenyi.Liverpool ekubiddwa omupiira ogwokusatu ku bugenyi ogw’omuddiring’anwa mu Premier League nga gwe mulundi ogusoose mu myaka kkumi, Wolves ebadde mu kiraabu ezisembye ku kimeeza bw’egisabudde ggoolo 3 – 0.

Joel Matip (omuzibizi wa Liverpool) y’agguddewo ggoolo za Wolves bwe yeeteebye mu katimba ke kyokka n’embooge ebadde tennabuguma, omuzibizi wa Wolves Craig Dawson n’abongera endala mu ddakiika 12 ez’ekitundu ekisooka.

Newankubadde Liverpool egezezzaako okudda n’amaanyi mu kitundu eky’okubiri ng’eyagala okuyunga omupiira guno, tewali njawulo gy’ekoze wabula babadde bakyali awo ate Wolves n’ebazinduukiriza okukkakkana nga Ruben Neves (kapiteeni) abongedde ggoolo eyookusatu gy’oyinza okuyita ‘ggyayo essuubi’!

Mu kiseera kino Liverpool etubidde mu kifo kya 10 ku kimeeza kya liigi nga kati abawagizi abakkiriza edda nti tekyali ku kikopo batandise n’okuggyayo essuubi oba kiraabu yaabwe eneesobola okukiika mu mpaka za Champions League sizoni ejja.

Klopp yeetonze

“Entandikwa yaffe mu kitundu ekisooka ebadde ya kibogwe nnyo, tekkirizika era terina kukkirizibwa kuddamu kubaawo ku kiraabu ennene nga Liverpool.

Abawagizi baffe tubeetondera nti mutusonyiwe era mulina eddembe okutunenya n’okutulamula kubanga ekitutuuseeko mu ddakiika ezisoose 12 tekirina kubaawo,” bw’agambye.                                                                                                                   

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *