Ttiimu ya Liverpool esambira mu ggwanga lya Bungereza mu kibinja ekikulu ekya Pulimiya yeesimbye mu bikopo bina sizoni eno era nga esuubi ddene ttiimu eno okubitwala kubanga k buli kikopo eraga omutindo ogutali gwa bulijjo. Wadde nga Liverpool yali ebaddeko mu kaseera akalungi mu myaka gya ba Bob Paisley, Billy Shankly ne Ken Dalglish, Liverpool
Ttiimu ya Liverpool esambira mu ggwanga lya Bungereza mu kibinja ekikulu ekya Pulimiya yeesimbye mu bikopo bina sizoni eno era nga esuubi ddene ttiimu eno okubitwala kubanga k buli kikopo eraga omutindo ogutali gwa bulijjo. Wadde nga Liverpool yali ebaddeko mu kaseera akalungi mu myaka gya ba Bob Paisley, Billy Shankly ne Ken Dalglish, Liverpool ya Jurgen Klopp erabika nga essukulumye oluvannyuma lw’okwesimba mu bikopo bina ebyamanyi. Ttiimu eziri mu ggwanga lya Bungereza zirwanira ekikopo ekya liigi, ekya FA, ekya waka n’ekubya Bulaaya okuli ekya Kyampiyoni, ona Yuropa oba Konfuleensi, naye nga Liverpool bino byonna ekyaliko wadde nga sizoni ekomekerezebwa.
Carabao Cup (Ekikopo ekisambirwa ttiimu zonna ez’awaka)
Kino Liverpool yakitwala dda nga ewangula ttiimu ya Chelsea mu kusimulagana obunnya. Bano baakuba Chelsea nga 27 ogw’okbiri ku kisaawe kya Wembley goolo 11-10 oluvannyuma lwokugwa amaliri aga 0-0.
FA Cup (Ekisambirwa ttiimu eza liigi ye waka zonna)
Kino Liverpool eri ku luzannya olwakamalirizo era nga yakuddamu okusamba Chelsea ku kisaawe kya Wembley nga 14 omwezi guno.
Premier Liigi (Liigi enkulu eya Bungereza)
Mu kino, Liverpool ekyatadde akazito ku ttiimu ya Manchester City ejikulembedde ku kabonero kamu kokka. Ttiimu zombi zibuzaayo emipiira etaano naye nga singa Man City asuulamukko obubonero bubiri ate yo Liverpool nesigala nga ewangula, ekyasobola okutwala ekikopo kino. Eno yagoba ekikopo kino okuva ku bubonero 14 ppaka kati ku kabonero kano.
Champions Liigi. (Ekikopo ekivuganyizibwa ttiimu zi bbingwa eza Bulaaya)
Kino Liverpool eyolekedde okutuuka ku luzannya olwakamalirizo oluvannyuma lw’okukuba Villareal mu luzannya olwasooka ku goolo 2-0. Singa enayitawo ku luzannya olwokubiri lweyetaagako amaliri oba okuwangula oba okukubwa goolo ezitasuka bbiri, yakuyitawo esambe anawangula wakati wa Man City ne Real Madrid ku fayinolo.
Teri ttiimu yali ewangudde bikopo bina nga bya sizoni emu wadde nga Bayern Munich, Real Madrid, PSG, Barcelona ne Celtic zaali ziwanguddeko ku bikopo ebina wadde nga tebyali bya sizoni emu.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *