Lonyesi alwana kuzza Police FC mu liigi ya ‘Super’

<strong>Lonyesi alwana kuzza Police FC mu liigi ya ‘Super’</strong>

Leero Lwakuna mu Big League Ndejje University – Police, Luweero Kitara – Kataka, Hoima Luweero United – NEC, Luweero Kaaro Karungi – Booma FC, Ibanda Soroti City – Lugazi, Soroti Northern Gateway – Kyetume, The gate Ground ANGELO Lonyesi omutendesi wa Police FC alwana kuzza ttiimu eno mu Super League gye yasalwako sizoni ewedde oluvannyuma

Leero Lwakuna mu Big League

Ndejje University – Police, Luweero

Kitara – Kataka, Hoima

Luweero United – NEC, Luweero

Kaaro Karungi – Booma FC, Ibanda

Soroti City – Lugazi, Soroti

Northern Gateway – Kyetume, The gate Ground

ANGELO Lonyesi omutendesi wa Police FC alwana kuzza ttiimu eno mu Super League gye yasalwako sizoni ewedde oluvannyuma lw’omutindo ogw’ekibogwe.

Okusalwako sizoni ewedde, Police yali emaze emyaka 27 ng’ezannyira mu liigi ya babinywera. Leero (Lwakuna) bakyalidde Ndejje University mu disitulikiti y’e Luweero nga basabirira Kitara FC ekulembedde liigi ekubwe Kataka.

Police eri mu kifo kyakubiri ku bubonero 38 ate Kitara ekulembedde n’obubonero 40, ssinga Kataka ekubira Kitara e Hoima ate Police n’ewangula Ndejje, wiiki ejja yaakuggwaako nga Police y’eri ku ntikko.

Raymond Komakech atendeka Ndejje asabye abazannyi be buli mupiira bagukwate nga fayinolo okutangaaza emikisa gy’okumalira mu bifo ebisava mu mipiira 10 egisigaddeyo.

NEC FC oluvannyuma lw’okukubwa Kitara (1-0) wiiki ewedde, leero erina omukisa okukomawo mu bifo ebisatu ebisooka ssinga emegga Luweero United gye yawangula (2-0) mu nsiike eyasooka e Bugoloobi.

Bali mu kifo kyakuna n’obubonero 37 bwe basibaganye ne Mbarara City eri mu kyokusatu wabula wiiki eno terinaayo mupiira, ekiwa NEC enkizo y’okukomawo mu basatu abasooka.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *