Lubega waakuttunka n’omutanzania Mbaruku.

Lubega waakuttunka n’omutanzania Mbaruku.

Joey Vegas Lubega akomyewo mu  miguwa ng’awera kutandikira we yakoma ng’akuba omutanzania Kheri Mbaruku. Lubega ne Mbaruku baakuttunka ku musipi gwa ‘WBU intercontinental Cruiserweight Title mu lulwana olusuubirwa okubaako okuvuganya okwamaanyi. Bakuttunka mu laawundi 12 nga October 1, omwaka guno ku MTN Arenae Lugogo nga lutegekeddwa ba ‘Gloves and Glory’. Luno lwe lulwana lwa Lubega

Joey Vegas Lubega akomyewo mu  miguwa ng’awera kutandikira we yakoma ng’akuba omutanzania Kheri Mbaruku.

Lubega ne Mbaruku baakuttunka ku musipi gwa ‘WBU intercontinental Cruiserweight Title mu lulwana olusuubirwa okubaako okuvuganya okwamaanyi.

Bakuttunka mu laawundi 12 nga October 1, omwaka guno ku MTN Arenae Lugogo nga lutegekeddwa ba ‘Gloves and Glory’.

Luno lwe lulwana lwa Lubega olusoose kuva 2019 ng’omugatte yaakalwa ennwaana 42 kw’awangudde 21 nga 14 aziwangulidde ku kikonde tonziriranga, alemaganye 3 n’okukubwa 18.

Mbaruka wa nnwaana 28 awanguddeko 18 n’okukubwa 10.

Lubega ategeezazza nti azze kuwangula musipi guno n’alabula omutanzania okujja ng’amaze kulaamira ab’ewaabwe.

Mu nnwaana endala, Isaac Masembe eyawangulira Uganda omudaali gwa feeza mu mizannyo gya Afrika egya 2019, waakuttunka ne Hassan Musuuza Catherine Nanziri eyakiikiridde Uganda mu mizannyo gya Olympics e Japan bumwefuke ne Salima Tebesigwa nendala.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *