OmuteebI wa Switzerland Breel Embolo asibuka e Cameroon ateebye ttiimu y’eggwanga gy’asibuka (eya Cameroon) n’atajaganya olwa Switzerland eyamuwa obutuuze n’ewangula omupiira ku goolo 1-0. Embolo (ng’erinnya lino mu Lucamerooni litegeeza ekibala kya Ebony) yateebye ng’ekitundu ekyokubiri kyakayitako eddakiika ssatu zokka kyokka n’atajaganya olw’okussa ekitiibwa mu ggwanga lya bajjajjaa be. Ono baamuzaalira Cameroon, n’atwalibwa mu Switzerland
OmuteebI wa Switzerland Breel Embolo asibuka e Cameroon ateebye ttiimu y’eggwanga gy’asibuka (eya Cameroon) n’atajaganya olwa Switzerland eyamuwa obutuuze n’ewangula omupiira ku goolo 1-0.
Embolo (ng’erinnya lino mu Lucamerooni litegeeza ekibala kya Ebony) yateebye ng’ekitundu ekyokubiri kyakayitako eddakiika ssatu zokka kyokka n’atajaganya olw’okussa ekitiibwa mu ggwanga lya bajjajjaa be.
Ono baamuzaalira Cameroon, n’atwalibwa mu Switzerland nga wa myaka 5, olwateebye yawanise emikono mu bbanga olwo n’aleka banne Abazungu okujaganya ng’ateebye olw’okussa ekitiibwa mu nsi ye ey’Obuzaale.
“Goolo eno ebadde ya njawulo kubanga be nteebye gye nsibuka. Y’ensi ya maama ne taata era ab’oluganda lwange abasinga obungi gye bali, kyokka nnina essanyu lingi nti nteebye goolo yange esooka mu kikopo kya World Cup game.” Embolo bwe yagambye
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *