Kiddiridde abaddusi bano okuvumbeera mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Cross Country Championships egyayindidde mu Bathurst ekya Australia ku Lwomukaaga. Ku baddusi 23 abaakiikiridde Uganda mu mpaka zino, 13 baabadde bakazi nga 10 basajja kyokka bwe kyatuuse mu kuwangula emidaali, tewali mukazi (ssekinnoomu) yawangudde mudaali. Kino kitiisizza abakwatibwako guno nga bagamba nti singa tewabaawo
Kiddiridde abaddusi bano okuvumbeera mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Cross Country Championships egyayindidde mu Bathurst ekya Australia ku Lwomukaaga.
Ku baddusi 23 abaakiikiridde Uganda mu mpaka zino, 13 baabadde bakazi nga 10 basajja kyokka bwe kyatuuse mu kuwangula emidaali, tewali mukazi (ssekinnoomu) yawangudde mudaali.
Kino kitiisizza abakwatibwako guno nga bagamba nti singa tewabaawo kikolebwa kibiina ekiddukanya misinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation, kuyamba abaddusi abakazi, emidaali mu bo gyandifuuka olufumo.
Prisca Chesang ye muddusi omukazi eyasinze okukola obulungi mu misinde gino naye yaakasuumusibwa okudduka mu gy’abakulu.
Yamalidde mu kyamusanvu, Stella Chesang kya 10, Doreen Chesang mu kya 11, Annet Chelangat kya 13, Rispa Cherop kya 16 ate Mercyline Chelangat yamalidde mu 32.
OMUTENDESI W’EMISINDE AYOGEDDE;
Omutendesi w’emisinde Nalis Bigingo agamba nti abaddusi abakyala abasinga bwe bawangula empaka ennene, basuula ennanga nga balowooza nti batuuse abamu bafuna embuto ne bazaala, ekibaviirako abamu okumala emyaka ebiri oba okusingawo nga tebadduka.
“Ebizibu ebijja n’okuzaala tebiba byangu. Oluvannyuma lw’okuzaala, abaddusi balina omukisa nga bafunye n’okutendekebwa okulungi baddamu okuvuganya ate abateefuddeeko, tebakomawo. Wabula kitukakatako nga abakulembeze okusigala nga tulondoola abaddusi bano tulabe ebigenda mu maaso mu bulamu bwabwe,” Bigingo bwe yategeezezza.
Ku baddusi abakazi 13 abaagenze mu mpaka zino, babiri ku bo (Stella Chesang ne Mercyline Chelangat baazaalako nga bano baazaala baakava mu mizannyo gya Commonwealth egyali mu kibuga Gold Coast ekya Australia mu 2018. Chesang yawangula zaabu mu gya mmita 10,000 mu mizannyo egyo ate Chelangat n’awangula omudaali gw’ekikomo.

Wadde nga ttiimu ya Uganda ey’abakyala yamalidde mu kyakusatu n’ewangula omuddaali ogw’ekikomo, guno si gwe mutindo ogwabadde gubasuubirwamu.
ABADDUSI ABAKAZI TUBALONDOOLA
Namayo Mawere, omwogezi w’ekibiina ekiddukanya emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation (UAF), agamba nti bali mu kaweefube okulaba ng’abaddusi abakyala batambulira mu kkubo eggolokofu baleme kusuulawo birooto byabwe.
“Ekisooka tulina emisomo mwe twogerera n’abaddusi abakazi ne tubabuulirira okwewala ebintu ebisobola okubaggya ku mulamwa era omuddusi bw’aba ng’avudde ku mulamwa twogera naye mu buntu ne tulaba engeri y’okumuzza ku mulamwa.
h Nga ekibiina, twagala abaddusi abakazi kuba baweesezza eggwanga ekitiibwa mu mpaka eziwerako. Wabula wadde nga tubasuubiramu bingi, tulina okukimanya nti nabo bantu abalina obulamu era nga balina engeri gye baagala okubutambuzaamu,” Mawerere bwe yategeezezza.
INZIKURU KY’AGAMBA;
Bukedde bwe yali ayogerako ne Dorcus Inzikuru, eyawangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka z’ensi yonna eza mmita 3000 ez’okubuuka nga bw’ogwa mu mazzi mu 2005 ne 2006 mu Commonwealth, yategeeza nti okutendekebwa omuddusi omukazi kw’afuna ng’amaze okuzaala, kwe kusobola okumuyamba okudda ku maapu.
Mu February w’omwaka oguwedde 2022 Mercyline Chelangat yaakawangula egy’eggwanga egya Cross Country e Tororo yategeeza nti omuddusi azaddeko okukomawo kisinziira ku ngeri gy’ajjanjabwamu ng’amaze okuzaala. “Si kyamagezi omuddusi okuzaala n’akomerawo mu misinde. Bw’okikola, oba oyolekedde akaseera akazibu era kyandiba ekizibu okuwangaalira mu misinde.
abaddusi abamu bazaala ne balemwa okudda, waliwo abazadde ne bakomawo ate ne bawangula emidaali mu gy’ensi yonna. Kino kitegeeza nti, abakulira emisinde mu Uganda, balina okulaba nga bassaawo enkola eyamba ku baddusi abamaze okuzaala.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *