Makerere ewangudde empaka z’okuwuga mu mizannyo gya AUUS 2023.

Makerere ewangudde empaka z’okuwuga mu mizannyo gya AUUS 2023.

MAKERERE erangiriddwa ku bwa kyampiyoni bw’okuwuga oluvannyuma lw’okufutizza ttiimu za yunivasite 10 mizannyo gya AUUS egimaze ennaku nnya (4) nga giyindira ku Uganda Christian University e Mukono. Makerere ye yadduukiridde abategesi aba UCU n’ekidiba abayizi mwe bawugidde, wabula n’egaana yunivasite endala okugijjoogera ewaayo bwe yakukumbye omugatte gwa midaali 1211 nga kuliko egy’abawala 641 n’abasajja 570.

MAKERERE erangiriddwa ku bwa kyampiyoni bw’okuwuga oluvannyuma lw’okufutizza ttiimu za yunivasite 10 mizannyo gya AUUS egimaze ennaku nnya (4) nga giyindira ku Uganda Christian University e Mukono.

Makerere ye yadduukiridde abategesi aba UCU n’ekidiba abayizi mwe bawugidde, wabula n’egaana yunivasite endala okugijjoogera ewaayo bwe yakukumbye omugatte gwa midaali 1211 nga kuliko egy’abawala 641 n’abasajja 570.

Jacob Mugisha, Priscilla Erapu, Charity Nannungi, Ruth Zulaika Nabudo, Grace Nakalyowa Kirabo, Dorah Nankunda, Hannat Nakimuli n’abalala be baafunidde Makerere zaabu mu mitendera egy’enjawulo.

Ndejje University ababadde bakyampiyoni b’okuwuga sizoni ewedde 2019, omulundi guno bakutte kyakusatu bwe baakung’aanyizza omugatte gwa midaali 626 nga gyonna gya basajja bokka.

Emizannyo gino gikomekkerezebwa mu butongole ku Lwokuna (December 21, 2023) nga yunivasite 23 ze zeetabye mu mizannyo 17 egivuganyiziddwaako.

EKIBALO KY’EMIDAALI

ABAKAZI

Makerere     641

MUBS            342

UCU                26

ABASAJJA

Ndejje            626

Makerere     570

MUBS            376

Kampala U. 58

UCU                28

Nkumba        22

OMUGATTE BULI YUNIVASITE

Makerere     1211

MUBS            718

Ndejje            626

UCU                54

Kampala U.  58

Nkumba        22

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *