Buddu ne Busiro ziyiseewo okwesogga  fayinolo mu mpaka z’amasaza cup 2022.

 Buddu ne Busiro ziyiseewo okwesogga  fayinolo mu mpaka z’amasaza cup 2022.

Ttiimu y’essaza Buddu ne Busiro ziyiseewo okwesogga oluzannya olwakamalirizo olw’empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere. Buddu okutuuka ku fayinolo ewanduddemu Bulemeezi ku tteeka lya ‘Away Goals Rule’, yadde nga Bulemeezi ewangudde Buddu goolo 2-1 mu kisaawe e Kasana Luweero. Buddu omuzannyo ogwasooka e Masaka, Buddu yaguwangula goolo 1-0, kyokka Buddu esobodde okuteebamu Bulemeezi e Kasana,

Ttiimu y’essaza Buddu ne Busiro ziyiseewo okwesogga oluzannya olwakamalirizo olw’empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere.

Buddu okutuuka ku fayinolo ewanduddemu Bulemeezi ku tteeka lya ‘Away Goals Rule’, yadde nga Bulemeezi ewangudde Buddu goolo 2-1 mu kisaawe e Kasana Luweero.

Buddu omuzannyo ogwasooka e Masaka, Buddu yaguwangula goolo 1-0, kyokka Buddu esobodde okuteebamu Bulemeezi e Kasana, Bulemeezi kyetaakola e Buddu.

Busiro eyiseewo oluvanyuma lw’okukuba Ssingo goolo 1-0 mu kisaawe e Ssentema.

Busiro eyiseewo ku mugatte gwa goolo 4-3 ku omupiira ogwasooka e Mityana, ttiimu zonna zalemagana goolo 3-3.

Kakaano Buddu etuuse ku fayinolo omulundi ogw’okusatu ogw’omudiringanwa, ate Busiro etuuse mulundi gwakubiri nga yasemba mu 2019.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *