Masaza:Busiro ekyajaganya.

Masaza:Busiro ekyajaganya.

Abakungu ba ttiimu y’Essaza lya Busiro batekateeka kutambuza kikopo kye baawangudde bwe baakubye Buddu {2-1} ku fayinolo y’empaka z’Amasaza ku Lwomukaaga. Busiro ekyagenda mu maaso n’okujaguza,bategese okutambuza ekikopo kino  mu bakungu n’ebitundu by’essaza lino eby’enjawulo n’ekigendererwa:okubeebaza olw’okubawa obuwagizi. ‘’Tutegeka kusookera wa Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala,Paul Simwogerere ekikop tukimwanjulire kuba yatusabira omukisa okukiwangula,’’ omu ku

Abakungu ba ttiimu y’Essaza lya Busiro batekateeka kutambuza kikopo kye baawangudde bwe baakubye Buddu {2-1} ku fayinolo y’empaka z’Amasaza ku Lwomukaaga.

Busiro ekyagenda mu maaso n’okujaguza,bategese okutambuza ekikopo kino  mu bakungu n’ebitundu by’essaza lino eby’enjawulo n’ekigendererwa:okubeebaza olw’okubawa obuwagizi.

‘’Tutegeka kusookera wa Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala,Paul Simwogerere ekikop tukimwanjulire kuba yatusabira omukisa okukiwangula,’’ omu ku bakungu ba Busiro bwe yategeezezza.

Bannabusiro basuubira n’okugendako ku distrulikiti e Wakiso okwanjulira ssentebe wa distrulikikti eno, Matia Lwanga Bwanika ekikopo kino eno gye banaava okugenda ku kisaawe ky’ennyonyi  e Ntebe  nabo babanjulire ekikopo kuba babadde bamu ku bavujjirizi ba ttiimu eno.

Mu ngeri y’emu,basuubira okukitwalako ewa  Katikkiro Peter Mayiga mu Bulange e Mmengo {wabula Katikkiro asula Lweza mu Makindye Saabagabo mu ssaza lye Kyaddon do ate ng’asibuka mu Buddu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *