Sofapaka fc ezannyira mu kenya mu liigi enkulu esazizaamu endagaano y’Omukwasi wa goolo mathias kigonya mu bbanga lya myezi ena gyokka nga kyajje yeegatte ku ttiimu eno. Kigonya yegatta ku sofapaka mu mwezi ogw’omwenda omwaka oguwedde nga ava mu kakamega homeboys eya kenya. Mathias kigonya asambiddeko ne azam eya Tanzania wamu ne forest rangers eya
Sofapaka fc ezannyira mu kenya mu liigi enkulu esazizaamu endagaano y’Omukwasi wa goolo mathias kigonya mu bbanga lya myezi ena gyokka nga kyajje yeegatte ku ttiimu eno. Kigonya yegatta ku sofapaka mu mwezi ogw’omwenda omwaka oguwedde nga ava mu kakamega homeboys eya kenya.

Mathias kigonya asambiddeko ne azam eya Tanzania wamu ne forest rangers eya Zambia, wabula nga wano mu Uganda, ebbanga lye erisinga yasambira solito bright stars. Kigonya yasambirako ne ttiimu ye ggwanga eya cranes emipiira 8. Guno gubadde murundi gwe gwakubiri ku sofapaka wabula nga ono ssiyeeyekka eyayawukkanye ne ttiimu eno nga munna-uganda, wabula nga bano basazzizaamu n’endagaano ya davis kasirye.
Kigonya yeebaziza buli ssekinomu amukwatiddeko ku sofapaka era nategeeza nti wakutandika okuyigga kirabbu endala.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *