Matthias Nalyanya- Mujje ku Kampala Club mutumbule ebitone byammwe.

<strong>Matthias Nalyanya-</strong> <strong>Mujje ku Kampala Club mutumbule ebitone byammwe.</strong>

Emizannyo egya Chairman’s Cup 2023 ku Kampala Club: Mu Badminton: Abakazi abasussa emyaka 60 – Jolly Byaruhanga Abakazi wansi w’emyaka 60 – Liz Nambuya Mugabi Abasajja abasussa emyaka 60 – John Bazara Abasajja wansi w’emyaka 60 – Simon Mugabi. Mu ttena; Abasjja abasussa emyaka 60 – Lemy Twinomugisha Abasajja wansi w’emyaka 60 – Louis Tayebwa

Emizannyo egya Chairman’s Cup 2023 ku Kampala Club:

Mu Badminton:

Abakazi abasussa emyaka 60 – Jolly Byaruhanga

Abakazi wansi w’emyaka 60 – Liz Nambuya Mugabi

Abasajja abasussa emyaka 60 – John Bazara

Abasajja wansi w’emyaka 60 – Simon Mugabi.

Mu ttena;

Abasjja abasussa emyaka 60 – Lemy Twinomugisha

Abasajja wansi w’emyaka 60 – Louis Tayebwa

Abakazi ssekinnoomu – Tilda Nabbanja

Omukazi n’omusajja – Gilbert Guma / Tilda Nabbanja

Ttena y’oku mmeeza:

Omukazi waggulu w’emyaka 60 – Edith Karashani

Omukazi wansi w’emyaka 60 – Liz Nambuya Mugabi

Okuwuga;

Abakazi akasussa emyaka 60 – Roslin Kohirwe

Abakazi wansi w’emyaka 60 – Joan Katushabe

Abasajja abasussa emyaka 60 – Martin Fowler

Abasajja wansi w’emyaka 60 – Allain Gerard

Bammemba ba Kampala Club abasoba mu 160 be beenyigidde mu mpaka ezaamaze wiiki nnamba nga bavuganya mu mizannyo mwenda. Gyakomekkerezeddwa n’akabaga kwe baasalidde endongo ssaako okulya n’okunywa.

Ssentebe wa Kampala Club, Matthias Nalyanya akoowodde abantu okwettanira okugenda mu kifo kino okutumbula ttalanta zaabwe basobole okutuukana n’omutindo ogukiikirira eggwanga kuba balina ebikozesebwa mu mizannyo egiwerako. Wabula agambye nti okuzannyirayo oteekeddwa okusooka okubeera mmemba wa kiraabu eyo era n’agumya abantu nti tebaseera.

“Tulina emizannyo okuli; okuwuga, ttena ey’oku mmeeza, ey’oku ttaka, ey’ekyoya, darts, ttena ey’oku kisenge, scrabble (okupanga ennukuta), omweso kw’ossa n’okutambula. Tulina abazannyi ba ttena ey’oku kisenge abaakiikiridde Uganda mu Commonwealth, All Africa Games ne Davis Cup mu ttena ey’oku ttaka. Buli omu alina omukisa okutumbula ttalanta ye wano,” Nalyanya bw’agamba.

Bino byabadde mu kugabira bawanguzi emidaali n’ebirabo. Nalyanya era nga ye pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Tennis Association (ekiddukanya ttena ey’oku ttaka) era agamba nti bo nga abazadde abasoba mu 1000 abali mu kiraabu eno bawa ekyokulabirako eri abaana baabwe naddala abali mu masomero nabo okwettanira emizannyo ate nabo okukuuma emibiri nga miramu okuweereza eggwanga.

“Omuzadde bw’aba azannya, abaana be bamulabirako ate nga naye kimukakatako okubateekamu ensimbi okukuguka mu mizannyo egitali gimu,” Nalyanya bw’ayongerako.

Abawanguzi abalala kuliko Monday Aliho ne Timothy Kayondo abaawangudde mu squash (ttena ey’oku kisenge), Daniel Kyazze mu Scrabble, Abas Luyombo mu Mweso, ate nga Allen Mwesigwa (mu bakazi) ne Wilber Turyamubona (mu basajja) be bawangudde mu muzannyo gwa Darts. Juliet Kisitu, Jenifer Kaggwa ne Ivan Bwirukiro baawangudde mu kutambula kkiromita ttaano.

Standard Chartered Bank, Exim Bank, Centenary Bank ne Uganda Breweries be baatadde ensimbi mu mpaka zino.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *