KYADDAAKI omutendesi wa ttiimu ye ssaza lya Kabula,Hussein Mbalangu asuddewo omulimu gw’okutendeka ttiimu eno. Ono wasuuliddewo ttiimu eno ng’omutindo gwayo gukyagaanye okulinnya ,oluvanyuma lw’okuzannya emipiira 5 ne balemererwa okufunayo obuwanguzi bwonna. Yasembyeyo kukubwa Ssese ggoolo 2-1 ku Lwomukaaga bwe yagikyalidde mu maka gaayo ku kisaawe e Lutoboka,ate nga yabadde yakamala okukubwa Mawokota ne Gomba gye
KYADDAAKI omutendesi wa ttiimu ye ssaza lya Kabula,Hussein Mbalangu asuddewo omulimu gw’okutendeka ttiimu eno.
Ono wasuuliddewo ttiimu eno ng’omutindo gwayo gukyagaanye okulinnya ,oluvanyuma lw’okuzannya emipiira 5 ne balemererwa okufunayo obuwanguzi bwonna.
Yasembyeyo kukubwa Ssese ggoolo 2-1 ku Lwomukaaga bwe yagikyalidde mu maka gaayo ku kisaawe e Lutoboka,ate nga yabadde yakamala okukubwa Mawokota ne Gomba gye buvuddeko.
Bwe yabadde nga eyerwaanako,yasobodde kukola amaliri ne Mawogola wamu ne Busiro ekintu ekitabudde abawagizi n’abakungu baayo ne batandika okuteeka puleesa mutendesi n’abazannyibe.

“Nsazeewo okulekulira omulimu gw’okutendeka Kabula,nsobole okufuna obudde obumala okutendeka ttiimu ya NEC eyabadde yakamala okumpa omulimu gw’okugitendeka mu liigi y’ekibinja kya babinyweera gye yayingidde sizoni ewedde”; bwatyo Mbalangu bwe yategeezeza ng’atuukiriddwa kunsonga eno.
Wabula abakungu ba Kabula,basigadde bakukuluma olwa kye baayise okuwulirira ensonga y’okulekulira kwa Mbalangu ku mikutu gya mawulire, mu kifo ky’okugibategeezaako bamusiibule mu butongole.
Mbalangu atendeseeko ttiimu za masaza okuli; Kyaggwe wamu n’eza liigi ya babinyweera okuli; Arua Hill, Mogadishu City(eye Somalia), The Saints ne SC Villa(gye yakolerako ng’omumyuuka w’omutendesi). Era nga mukiseera kino yagenda okutendeka “National Enterprise Corporation (NEC) FC,ng’omutendesi omujjuvu, oluvanyuma lw’okugobwa kw’abadde omutendesi waayo,Skills Lukyamuzi,eyagiyingiza mu kibinja kya babinyweera sizoni ewedde
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *