Mbarara City eyongedde akazito ku Kitara FC.

<strong>Mbarara City eyongedde akazito ku Kitara FC.</strong>

Mbarara City 4-1 Calvery Leero (Lwakuna) Kyetume – Ndejje, Nakisunga Kataka – Luweero, Mbale NEC – Soroti City, Bugoloobi Lugazi – Adjumani T/C, Lugazi Jinja North – Kaaro Karungi, Jinja Booma – Northern Gateway, Masindi MBARARA City eyongedde akazito ku Kitara FC mu kulwanira entikko ya Big League esigazaako emipiira 9 gyokka okukomekkerezebwa sizoni eno.

Mbarara City 4-1 Calvery

Leero (Lwakuna)

Kyetume – Ndejje, Nakisunga

Kataka – Luweero, Mbale

NEC – Soroti City, Bugoloobi

Lugazi – Adjumani T/C, Lugazi

Jinja North – Kaaro Karungi, Jinja

Booma – Northern Gateway, Masindi

MBARARA City eyongedde akazito ku Kitara FC mu kulwanira entikko ya Big League esigazaako emipiira 9 gyokka okukomekkerezebwa sizoni eno.

Eggulo yabonerezza Calvery (4-1) ku kisaawe e Kakyeka n’esenvula okuva mu kifo kyokusatu okudda mu kyokubiri ku njawulo ya bubonero busatu bwokka Kitara ekulembedde bw’egisinga.

Seiri Arigumaho yateebye ggoolo bbiri yekka, Godfrey Sunday ne Jude Ssemugabi buli omu ggoolo emu.

Sadiq Ssempigi atendeka Mbarara agamba nti buli mupiira baakugukwata nga bwe guzze okutuusa ku ssaawa esembayo.

Leero NEC eri mu kifo ekyokuna erina omukisa okulinnya mu bifo ebisatu ebisooka nga bw’erinda Police FC ezannya Mbarara City ku Ssande.

Kitara ekulembedde n’obubonero 43, Mbarara (40), Police (39), NEC (37) n’abalala. Ttiimu ssatu ezikulembera ze zeesogga ‘Super’ sizoni ejja ate 4 ezisemba wansi za kusalwako okuddayo mu ligyoni

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *