Mbarara City FC benywezeza mu Big League.

Mbarara City FC benywezeza mu Big League.

Mbarara City FC mu Big League eyongedde okuggumira n’abazannyi abapya bana (4) mu kaweefube w’okulaba nga beenywereza mu bifo ebisatu ebisooka ebya ttiiimu ezeesogga ‘super’ sizoni ejja. Baleese Brian Mayanja Mululi abadde azannyira mu Mtibwa Sugar FC eya Tanzania, Bronson Nsubuga abadde yaakasalwako Blacks Power FC mu liigi y’eggwanga eya ‘Star Times Uganda Premier League’, Najib

Mbarara City FC mu Big League eyongedde okuggumira n’abazannyi abapya bana (4) mu kaweefube w’okulaba nga beenywereza mu bifo ebisatu ebisooka ebya ttiiimu ezeesogga ‘super’ sizoni ejja.

Baleese Brian Mayanja Mululi abadde azannyira mu Mtibwa Sugar FC eya Tanzania, Bronson Nsubuga abadde yaakasalwako Blacks Power FC mu liigi y’eggwanga eya ‘Star Times Uganda Premier League’, Najib Tusaba Gwaido (Bul FC) ne ggoolokippa Edrisa Kalembo.

Mayanja abadde yasalwako ttiimu ya Mtibwa Sugar ku ntandikwa ya sizoni eno egenda mu maaso, Mbarara okumuleeta emuggye ku katebe nga talina ttiimu yonna gye yeekutteko.

Ng’oggyeeko Mtibwa Sugar gye yaakawukana nayo, emabega azannyiddeko; Police FC, Nyamityobora FC, Kitara FC, Soana FC, Bul FC ne Bright Stars FC.

Ekitundu ekyokubiri ekya Big League kiggyibwako akawuuwo nga February 9, 2023. Mbarara City eri kifo kyakubiri n’obubonero 30 emabega wa Kitara ekulembedde na 31.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *