Mbarara erinnya ku ntikko ya Big League.

Mbarara erinnya ku ntikko ya Big League.

Egyazannyiddwa mu Big League Police 1-0 NEC Kitara 1-1 Booma Mbarara City 2-0 Jinja North MBARARA City FC emezze Jinja North United (2-0) n’erinnya ku ntikko ya Big League omutendesi Sadiq Ssempigi n’awera obutaddiriza muliro okutuusa nga ttiimu yeesozze ‘Super’. Mbarara yazze mu mupiira guno eggulo nga February 18, 2023, ng’erina obubonero 31 mu kifo

Egyazannyiddwa mu Big League

Police 1-0 NEC

Kitara 1-1 Booma

Mbarara City 2-0 Jinja North

MBARARA City FC emezze Jinja North United (2-0) n’erinnya ku ntikko ya Big League omutendesi Sadiq Ssempigi n’awera obutaddiriza muliro okutuusa nga ttiimu yeesozze ‘Super’.

Mbarara yazze mu mupiira guno eggulo nga February 18, 2023, ng’erina obubonero 31 mu kifo kyakuna, Kitara FC (32) kyakusatu, Police (33) mu kyokubiri ne NEC FC (33) ku ntikko.

Oluvannyuma lwa Kitara okukola amaliri (1-1) ku Booma FC ate NEC n’ekubwa Police FC (1-0), obuwanguzi bwa Mbarara bwagitutte butereevu ku ntikko n’obubonero (34), Kitara (33) mu kyokubiri, NEC FC (33) mu kyokusatu ne Police (33) kyakuna.

Guno gwabadde gwa kudding’ana ne Jinja North United ku kisaawe ky’e Kakyeka oluvannyuma lw’ensiike eyasooka okuggweera mu maliri ga (0-0) e Jinja.

“Kati buli mupiira tugutunuulira nga fayinolo, tekyali budde bulala twagala obubonero busatu okutangaaza emikisa egikomawo mu liigi ya babinywera,”Ssempigi bwe yategeezezza.

Jude Ssemugabi ne Henry Kitegenyi be baateebedde Mbarara kati wiiki ejja bakyalira Lugazi FC ku kisaawe kya SCOUL e Lugazi okwongera okwenywereza ku ntikko. Kitara FC yaakukyalira Jinja North United ku kisaawe kya Kyabazinga e Bugembe.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *