Mcho Sredojevic  yamatidde omutindo gwe Cranes

Mcho Sredojevic  yamatidde omutindo gwe Cranes

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga Cranes, Mcho Sredojevic yamatidde omutindo abazannyi be gwe baayolesezza nga balemagana ne Sudan mu gw’omukwano e Tunisia. Cranes yeetegekera mpaka za CHAN ezigenda okuyindira mu kibuga Algiers ekya Algeria.  Ku Lwokubiri, Cranes yazannye ne Sudan ng’omutendesi Micho agezesa abazannyi be abagenda okuttunka mu mpaka za CHAN n’ekiruubirirwa eky’okufuna ttiimu etandika. Cranes

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga Cranes, Mcho Sredojevic yamatidde omutindo abazannyi be gwe baayolesezza nga balemagana ne Sudan mu gw’omukwano e Tunisia. Cranes yeetegekera mpaka za CHAN ezigenda okuyindira mu kibuga Algiers ekya Algeria. 

Ku Lwokubiri, Cranes yazannye ne Sudan ng’omutendesi Micho agezesa abazannyi be abagenda okuttunka mu mpaka za CHAN n’ekiruubirirwa eky’okufuna ttiimu etandika.

Cranes erwana kuva mu kibinja mu mpaka zino omulundi ogusooka mu byafaayo mu mirundi etaano gye yaaketabamu. 

Micho yagambye nti abazannyi be baayolesezza omutindo omulungi wabula mu kitundu ekyokubiri baasumagiddemu ekyaviiriddeko Sudan okubakuba ggoolo ey’ekyenkanyi. Cranes yabadde ekulembedde ggoolo 2-1 ezaateebeddwa Karim Watambala ne Ibrahim Orit. 

“Nazudde amaanyi n’obunafu bwaffe we buli. Twakoze emikisa egiwera wabula ng’abateebi bange omupiira tebagiteeka mu katimba. Ng’enda kwongera okubawawula tusobole okuwangula emipiira egiddako,” Micho bwe yategeezezza. 

Ggoolo za Sudan zaateebeddwa Muhammad Abdulrahman eya peneti oluvannyuma lwa Derrick Ndahiro okukolera ekisobyo mu ntabwe ne Siddig Kuwa. 

Uganda ekomawo mu nsiike ku Lwokuna ng’ettunka ne Cameroon mu mupiira ogw’omukwano ogwokubiri nga yeetegekera CHAN eziggyibwako akawuuwo ku Lwokutaano. 

Uganda eri mu kibinja B omuli; DR Congo, Senegal ne Ivory Coast nga yaakuggulawo ne Congo nga January 14.   

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *