Micho alangidde Bannayuganda obutasiima.

Micho alangidde Bannayuganda obutasiima.

ABADDE omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic alangidde Bannayuganda obutasiima bwe baamwogeredde amafuukuule okutuusa lwe yakwatiddwa ku nkoona. Wiiki ewedde, FUFA yagobye Micho oluvannyuma lw’okulemwa okuyisaawo Cranes okugenda mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2023. Cranes yamalidde mu kyakusatu wansi wa Algeria ne Tanzania ezaayiseemu. Niger ye yakoobedde mu kibinja ekyo Micho agamba nti

ABADDE omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic alangidde Bannayuganda obutasiima bwe baamwogeredde amafuukuule okutuusa lwe yakwatiddwa ku nkoona.

Wiiki ewedde, FUFA yagobye Micho oluvannyuma lw’okulemwa okuyisaawo Cranes okugenda mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2023. Cranes yamalidde mu kyakusatu wansi wa Algeria ne Tanzania ezaayiseemu. Niger ye yakoobedde mu kibinja ekyo

Micho agamba nti Bannayuganda bandibadde bamusiima olw’ebirungi by’akoledde omupiira gwa wano okuli ne ttiimu y’eggwanga saako n’okutumbula ebitone bya bamusaayimuto.

Micho amaze emyaka egisoba mu 10 ng’emirimu yagitandikira mu SC Villa era y’omu ku batandesi abakyasembye okugiwangulira ekikopo kya liigi. Ye mutendesi eyamazeewo ekikwa kya Cranes obutazannya mu za Afrika okumala emyaka 39 bwe yakulembera ttiimu n’agitwala mu AFCON mu 2017.

“Likodi zange zeeyoleka. Oluvannyuma lw’okuwangula ebikopo mu sizoni ssatu ze namala mu SC Villa nagasseeko okutwala Cranes mu za Afrika wabula Bannayuganda tebatasiima. Engeri gye bangobyemu, yabadde tegwanidde,” Micho bwe yategeezezza.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *