Minisita w’ebyenjigiriza anaatabaganya NCS ne pulezidenti w’okubaka

Minisita w’ebyenjigiriza anaatabaganya NCS ne pulezidenti w’okubaka

Oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga waliwo okusika omugwa wakati wa pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation, Sarah Babirye Kityo ne ssaabawandiisi w’akakiiko k’emizannyo aka NCS, Dr. Benard Patrick Ogwel, kyaddaaki minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni abayise okugonjoola ensonga zaabwe. Enjuuyi zombi zaakusisinkana minisita nkya (Lwakusatu) okusala entotto ku biki ebiviirako okulwanag’ana kwa

Oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga waliwo okusika omugwa wakati wa pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation, Sarah Babirye Kityo ne ssaabawandiisi w’akakiiko k’emizannyo aka NCS, Dr. Benard Patrick Ogwel, kyaddaaki minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni abayise okugonjoola ensonga zaabwe.

Enjuuyi zombi zaakusisinkana minisita nkya (Lwakusatu) okusala entotto ku biki ebiviirako okulwanag’ana kwa bano bombi n’engeri y’okubimalawo.

Kityo ne Ogwel buli omu abadde ayogerera munne ebisongovu mu bya ssente ssaako buli omu okulumiriza nga bwe waliwo alwanyisa munne ekiremesezza emirimu okutambula obulungi.

Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde ebigambo NCS yayise olukiiko lwa bannamawulire okulongoosa erinnya lyayo ate ku Mmande ne Babirye n’ayogera ne bannamawulire ku nsonga ezibatabula.

Kino kiwaliriza Minisita Janet Museveni okubayita ensonga zigonjoolwe awatali kuddamu kulumang’ana.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *