Ensangi zino ebitongole bya gavumenti byetanidde nnyo ebyemizannyo nga omu ku kaweefube w’okulwanyisa ebirwadde ebiva ku kunafuwa kw’omubiri omuli sukaali ne puleesa. Ebimu ku bitongole ebyetanidde ennyo eby’emizannyo kuliko minisutule ya Public Service nga bano bafuuse mmo mukuzannya omuzannyo gwa Woodball. Ekitone kya bano kyeyolese nnyo bwe babadde beetabye mu mpaka za Women’s Day Women Championships
Ensangi zino ebitongole bya gavumenti byetanidde nnyo ebyemizannyo nga omu ku kaweefube w’okulwanyisa ebirwadde ebiva ku kunafuwa kw’omubiri omuli sukaali ne puleesa.
Ebimu ku bitongole ebyetanidde ennyo eby’emizannyo kuliko minisutule ya Public Service nga bano bafuuse mmo mukuzannya omuzannyo gwa Woodball.
Ekitone kya bano kyeyolese nnyo bwe babadde beetabye mu mpaka za Women’s Day Women Championships ez’omulundi ogw’okutaano ezaabadde ku ssomero lya Lubiri Nnaabagereka Primary School.
Ministry ya Public Service yeefuze empaka zino oluvannyuma lw’okuwangula omutendera gw’ebitongole n’ogwabakafulu.
Okuwangula omutendera gwa bakafulu ministry of Public Services ekung’aanyiza obubonero 444 okuyita mu bazannyi Jackie Naula , Joyce Nalubega ne Sophie Namuddu.

Mubs yakutte kyakubiri n’obubonero 513 nga Makerere University emalidde mu kyakusatu n’obubonero 590.
Ministry ya Public Service era y’ewangudde omutendera gw’ebitongole oluvannyuma lw’okukung’aanya obubonero n’obubonero 274, Yunivaasite y’e Kisubi ekutte kyakubiri n’obubonero 286 nga Ndejje Corporate Woodball Club emalidde mu kyakusatu n’obubonero 290.
Sophie Namuddu omu ku bazannyi b’ekitongole kino ategeezezza nti ekibayambye okukola obulungi kwe kuba nga omwaka guno baaguze abazannyi abapya okuva mu kkiraabu ez’enjawulo nga kino kye kibayambye okukola obulungi mu mpaka ze baakazannya.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *