Mmeeya Mulyannyama wakusa ssente mu Makindye Weyonje

Mmeeya Mulyannyama wakusa  ssente mu Makindye Weyonje

Mmeeya wa diviizoni y’e Makindye era ssentebe  wa kkiraabu y’okubaka eya Makindye Weyonje akakasizza nga bw’agenda okwongera okussa ssente mu kkiraabu eno okulaba nga bakola bulungi mu lawundi ey’okubiri ey’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball Super League. Liigi y’omuzannyo gw’okubaka esuubirwa okuddamu mu masekkati g’omwezi guno ogwa January. Okulaba nga bano bongera okukola obulungi, Weyonje ekansizza abazannyi

Mmeeya wa diviizoni y’e Makindye era ssentebe  wa kkiraabu y’okubaka eya Makindye Weyonje akakasizza nga bw’agenda okwongera okussa ssente mu kkiraabu eno okulaba nga bakola bulungi mu lawundi ey’okubiri ey’omuzannyo gw’okubaka eya National Netball Super League.

Liigi y’omuzannyo gw’okubaka esuubirwa okuddamu mu masekkati g’omwezi guno ogwa January. Okulaba nga bano bongera okukola obulungi, Weyonje ekansizza abazannyi abaggya okweyunga ku ttiimu nga bano bakwongera okunyweza oludda lwa makkati ko n’olugoba oluzibizi.

Mmeeya Ali Nganda Mulyanyama  yategeezezza nti ekigendererwa kyabwe nga olukiiko olufuga kkiraabu eno kwe kulaba nga abazannyi bazzaamu amaanyi okusobola okuteekawo okuvuganya okwetaagisa.

“Mu busobozi bwange nga ssentebe wa kkiraabu eno, njakukola kyonna ekyetaagisa okulaba nga nteekawo embeera esobozesa abazannyi okukola obulungi mu liigi. Ekigendererwa kyaffe kyakulaba nga tumalirira mu bifo ebitaano ebisooka okusobola okwekuumira mu liigi,” Mulyanyama bwe yategeezezza.

Liigi yagenda okuwummula nga Makindye Weyonje eri mu kifo Kyakuna n’obubonero 16.

KCCA ekulembedde liigi n’obubonero 22 mu mipiira 11, NIC mu kyakubiri n’obubonero 18 nga ebwenkanyankanya ne Prisons abali mu kyokusatu 

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *