Nga liigi ya babinywera ebulako akaseera katono ddala okutandika,ttiimu z’ejinja ebbiri okuli Modern FC ne BUL FC zaalaze amaanyi mu mpaka za Amhara Bank Tana mu Ethiopia. Wadde nga BUL FC yalaze obukoowu bungi mu gwasoose we balemaganye 1-1 ne Wolkitie City FC ,wabula obusungu bw’okugibwamu kiraabu ya Future FC ey’e Misiri mu CAF Confederation
Nga liigi ya babinywera ebulako akaseera katono ddala okutandika,ttiimu z’ejinja ebbiri okuli Modern FC ne BUL FC zaalaze amaanyi mu mpaka za Amhara Bank Tana mu Ethiopia.
Wadde nga BUL FC yalaze obukoowu bungi mu gwasoose we balemaganye 1-1 ne Wolkitie City FC ,wabula obusungu bw’okugibwamu kiraabu ya Future FC ey’e Misiri mu CAF Confederation baabumalidde ku Kolfe Testa FC gye baawuttudde 14-0.
Simon Oketch, Frank Kalanda ne Martin Aprem baateebye 3 buli omu wabula endala ne ziteebebwa Ibrahim Nsimbe(2) Anthony Mayanja Jerome Kirya ne Karim Ndugwa.
Baggya baabwe aba Modern FC abaasookayo mu mpaka zino, baawangudde emippira ebiri eza Charles Musiige ne Simon Sserunkuuma ababadde baakajja mu ttiimu mu katale k’okukyusa abazannyi.
Wabula pulezidenti wa Modern FC ,Edrine Ochieng yategeezezza nti ku luno bazimbye ttiimu egenda okuvuganya.
Buli ttiimu eneetuzannya e Jinja eneetuuwuliramu ‘Ochieng bwe yalabudde.’’
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *