Mu bikonde bya Afrika Uganda ewangudde omudaali ogwokubiri.

Mu bikonde bya Afrika Uganda ewangudde omudaali ogwokubiri.

Uganda ewangudde omudaali ogwokubiri mu mpaka za Africa Boxing Championships eziyindira mu kibuga Maputo ekya Mozambique. Yusuf Nkobeza ye yawandudde munnansi wa Seychelles,Aaron Joshua Cousin mu kiro ekyakeesezza leero.Nkobeza awumizza Cousin ekikonde tonzirirznga mu laawundi esooka ne yeesogga semi mu buzito bwa ‘middle’ ku semi, kwe batandikira okugaba emidaali. Nkobeza yeegasse ku Johan Kyobe eyasoose

Uganda ewangudde omudaali ogwokubiri mu mpaka za Africa Boxing Championships eziyindira mu kibuga Maputo ekya Mozambique.

Yusuf Nkobeza ye yawandudde munnansi wa Seychelles,Aaron Joshua Cousin mu kiro ekyakeesezza leero.Nkobeza awumizza Cousin ekikonde tonzirirznga mu laawundi esooka ne yeesogga semi mu buzito bwa ‘middle’ ku semi, kwe batandikira okugaba emidaali.

Nkobeza yeegasse ku Johan Kyobe eyasoose okwesogga semi bwe yakubye Omucameroon Ignas Tchouta Mbianda.

Ababiri bakomawo leero mu miguwa nga balubirira kwesoga fayinolo balwanire emidaali gya feeza oba zaabu. Leero Kyobe wakuttunka ne Armando Roberto Sigauque owa Mozambique ate Nkobeza attunke ne Gharroomi Dris owa Morocco.

Uganda yakiikiriddwa abaggunzi b’enguumi 7 mu mpaka zino.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *