Mu gya Commonwealth Owen Kibira amezze Ali Hossan.

Mu gya Commonwealth Owen Kibira amezze Ali Hossan.

Owen Kibira Kata yattimpudde munnansi wa Bangladesh Ali Hossan gweyabadde attunka naye mu miguwa mu mizanyo gya commonwealth. Kibira yawangudde ne yeesogga oluzannya lwa ‘quarter’ mu mizannyo gino ogiyindira e Bungereza mu kibuga Birmingham. Kibira 22, yawangulidde ku bubonero 5-0 mu lulwana olwabaddewo mu kiro ekyakeesezza olwokusatu.Battunkidde mu buzito bwa welter (Kiro 67) era kibira

Owen Kibira Kata yattimpudde munnansi wa Bangladesh Ali Hossan gweyabadde attunka naye mu miguwa mu mizanyo gya commonwealth. Kibira yawangudde ne yeesogga oluzannya lwa ‘quarter’ mu mizannyo gino ogiyindira e Bungereza mu kibuga Birmingham.

Kibira 22, yawangulidde ku bubonero 5-0 mu lulwana olwabaddewo mu kiro ekyakeesezza olwokusatu.Battunkidde mu buzito bwa welter (Kiro 67) era kibira yeefuze olulwana luno okuva ku ffirimbi esooka.

Kibira kati waakuttunka n’omuzambia Stephen Zimba ku ‘quarter’ nga bw’aluwangula, ekitono ennyo waakudda n’omudaali ogw’ekikomo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *