Bakyampiyoni b’emipiira gy’amasomero ga siniya, aba St Mary’s Kitende ne Kibuli SS, abaakasinga okuwangula ekikopo kino (emirundi 11), ebintu byabatandikidde bubi. Bombi baalemaganye ggoolo 1-1 mu mipiira gyabwe egyaguddewo eggulo mu mpaka zino eziyindira mu Arua ku Mvara SS. Kibuli 1-1 West Ville Kitende 1-1 Iki Iki (Budaaka) Standard 0-0 Tororo high Old kampala 1-
Bakyampiyoni b’emipiira gy’amasomero ga siniya, aba St Mary’s Kitende ne Kibuli SS, abaakasinga okuwangula ekikopo kino (emirundi 11), ebintu byabatandikidde bubi.
Bombi baalemaganye ggoolo 1-1 mu mipiira gyabwe egyaguddewo eggulo mu mpaka zino eziyindira mu Arua ku Mvara SS.
- Kibuli 1-1 West Ville
- Kitende 1-1 Iki Iki (Budaaka)
- Standard 0-0 Tororo high
- Old kampala 1- 0 St James
- St Andrew Kaggwa Gombe 2 – 0 God’s Hope
- Kabalega SS 0-1 Iganga Town Hill
- Amugu SS 2-0 Mvara SS
- London Col. 0-0 Kayunga Light Col
Kitende, eri mu kibinja A, yalemaganye ne Iki Iki okuva e Budaka, ate Kibuli mu kibinja C, n’eremagana ne West Ville.
Mu mirala, Standard High Zzana eyakiikiridde Wakiso, nayo byagitabuseeko bwe yakoze amaliri (0-0) ne Tororo High, ate Amugu SS n’ekanula abategesi (Mvara SS) amaaso, bwe yabakubye (2-0), mu maaso g’abawagizi. Old Kampala yatandise na buwanguzi bwe yakubye St James (1-0) n’efuna entandikwa ennungi mu kibinja B omuli n’abategesi.
Emipiira gino girimu ttiimu 60 ng’empaka zisuubirwa okuyindira ennaku 12. Kibuli eddamu leero ng’ettunka ne Arenge Siep
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *