Mu mpaka eziggulawo ez’Amasaza 2022 Buddu yeetegekera kumegga Mawogola.

Mu mpaka eziggulawo ez’Amasaza 2022 Buddu yeetegekera kumegga Mawogola.

Abaddukanya ttiimu y’essaza lya Buddu batuula bufoofofo nga beetegekera okwaniriza Ssaabasajja Kabaka wamu n’okuzannya omupiira oguggulawo empaka z’omupiira gw’Amasaza ez’omwaka guno 2022 nga battunka ne ttiimu ye Mawogola ku Lwomukaaga luno nga 25/06/2022 ku kisaawe kya Masaka Recreational Grounds. Bano nga bakulembeddwamu Ppookino Jude Muleke balonze akakiiko ka ttiimu y’essaza lino akagenda okukola ennyo okweddiza

Abaddukanya ttiimu y’essaza lya Buddu batuula bufoofofo nga beetegekera okwaniriza Ssaabasajja Kabaka wamu n’okuzannya omupiira oguggulawo empaka z’omupiira gw’Amasaza ez’omwaka guno 2022 nga battunka ne ttiimu ye Mawogola ku Lwomukaaga luno nga 25/06/2022 ku kisaawe kya Masaka Recreational Grounds.

Bano nga bakulembeddwamu Ppookino Jude Muleke balonze akakiiko ka ttiimu y’essaza lino akagenda okukola ennyo okweddiza ekikopo ky’essaza lino era Ppookino yakakasizza nti olw’okusiima emirimu akakiiko akakadde gyekakola konna kazzeemu okuweebwa emirimu.

Ssentebe w’akakiiko kano ye Lutaaya Joseph ate Minisita Harunah Kyeyune Kasolo n’omubaka Francis Katabaazi

Akakiiko kano Ppookino Muleke yakasabye okukolera awamu nga tebataddemu byabufuzi okusobola okukomyawo ekikopo mu Buddu.

Mu ngeri yeemu akakiiko akalala kalondeddwa okuteekateeka omukolo Beene Ssaabasajja Kabaka kwagenda okuggulirawo empaka z’omwaka guno  era kano kategeezezza nti kakukola kyonna okutegeka omukolo ogujja mu kitiibwa ky’Empologoma.

Ssentebe w’akakiiko kano, Omubaka omukyala owa Kyotera Fortunate Nantongo yategeezezza nti beetegese bulungi naye nakunga abalina obuyambi bw’ensimbi n’ebirala okubuwaayo.

Okusinziira ku Nantongo ku mulundi guno abantu abagenda okubeera awali ebiyitirirwa okukyuusaamu ku nnyambala nga kuluno bakwambala makanzu n’abakyala busuuti okwongera okuweesa omukolo ekitiibwa.

Buddu yeerina ekikopo ky’omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okukuba Buweekula 2-0 okutwala ekikopo kino nga ku luno eggulawo ne batabani ba Muteesa ab’e Mawogola.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *