Pepisi University League. Makerere university eri ku ssaala era singa tewangula mupiira gwayo gusembayo mu kibinja yandiwanduka mu mpaka za Pepisi University League. Lawrence university (SLAU) eyongedde okutangaaza emikisa egy’okuva mu kibinja D ekya liigi ya yunivasite bw’eyawangude Must 5- 2 n’ekajjala kuntikko. Obuwanguzi bwe yafunye egulo ku kisaawe e Kavule, bwawanuddeyo Makerere ku ntikko
Pepisi University League.
Makerere university eri ku ssaala era singa tewangula mupiira gwayo gusembayo mu kibinja yandiwanduka mu mpaka za Pepisi University League.
Lawrence university (SLAU) eyongedde okutangaaza emikisa egy’okuva mu kibinja D ekya liigi ya yunivasite bw’eyawangude Must 5- 2 n’ekajjala kuntikko.
Obuwanguzi bwe yafunye egulo ku kisaawe e Kavule, bwawanuddeyo Makerere ku ntikko y’ekibinja, kati SLAU ekulembedde n’obubonero 8 ,Makerere 6,YMCA 5 ne MUST 1.
SLAU yaakuding’ana ne YMCA mu siike esembayo, Makerere nayo erina okuzannya MUST wabula YMCA ekyabayinako enkizo kuba ebuzaayo emipiira ebiri (MUST ne SLAU)
Ttiimu ekulembera ekibinja ye yokka eyeeyongerayo mumutedera gwa quarter okwegatta ku IUIU,MBS, UMU ,Nkumba ne UCU ezAayitawo edda okuva mubibinja ebirala.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *