MUBS bongedde okulaga eryanyi.

MUBS bongedde okulaga eryanyi.

MAKERERE University Business School (MUBS) bongedde okulaga eryanyi bwe bawangudde omupiira ogw’okusatu ogw’omuddiring’anwa mu kibinja B ekya Pepsi University Football League sizoni eno. MUBS yakozesezza eddakiika nnya (4) zokka ku 90 okufuna ggoolo 3-1 nga bamegga Victoria University mu maka gaayo e Kabojja ekyatangaazizza emikisa gyabwe egy’okwesogga ‘quarter’ ng’esigadde emipiira esatu gyokka okukomekkereza egy’ekibinja kye

MAKERERE University Business School (MUBS) bongedde okulaga eryanyi bwe bawangudde omupiira ogw’okusatu ogw’omuddiring’anwa mu kibinja B ekya Pepsi University Football League sizoni eno.

MUBS yakozesezza eddakiika nnya (4) zokka ku 90 okufuna ggoolo 3-1 nga bamegga Victoria University mu maka gaayo e Kabojja ekyatangaazizza emikisa gyabwe egy’okwesogga ‘quarter’ ng’esigadde emipiira esatu gyokka okukomekkereza egy’ekibinja kye bakulembedde n’obubonero 9.

Ggoolo bbiri eza Benjamin Nazar mu ddakiike ye 76 ne 78 wamu n’eya Joseph Otema ze zaakutudde Victoria University eyabadde esoose okuteeba ng’ayita mu Abu Kajjabangu mu ddakiika ya 55 wabula akazito MUBS ke yabataddeko kaabazitooweredde ekisenge ne kyabika mu ddakiika ezisembayo.

MUBS yeenywerezza ku ntikko n’obubonero 9, Islamic University in Uganda erina buna (6) mu kyokubiri ate Victoria University ne Young Men’s Christian Association (YMCA) Comprehensive Institute balina akabonero kamu buli omu.

ISBAT EMPALE ZIGIREBERA NG’EKYALIDDE KAMPALA UNIVERSITY

Leero Lwamukaaga (October 21, 2023) bakyazizza International Business Science and Technology (ISBAT) e Luzira mu gw’okudding’ana wakati nga nabo baagala wiini okwesogga ‘quarter’ sizoni eno.

Wiiki ewedde Kampala University yalumbye ISBAT eno yennyini mu maka gaayo e Buwambo ne bagikubirayo ggoolo 2-0 guno baagala kwesasuza oba okuddamu okunuubulwa.

Bali mu kibinja F ekikulembeddwa Kampala University ku bubonero mukaaga (6), Bishop Stuart (BSU) erina busatu mu kyokubiri ne ISBAT etalinaayo wadde akabonero.

“Omupiira tugenda kuguwangula ate ne ggoolo eziwerako,” Vincent Tumusiime amanyiddwa nga T  iti Kamara atendeka Kampala University bwe yategeezezza.

Eno ye sizoni ya ISBAT esoose okwetaba mu liigi eno, bakubiddwa emipiira gyombi gye batandikiddeko nga Bishop Stuart University (BSU) yabaaniriza ebakuba (3-1) ne KU yabongedde (2-0).

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *